< Yobu 4 >
1 Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,
2 “Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
3 Laba, wayigiriza bangi, emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
4 Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa, era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
5 Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi; kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
6 Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo, n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?
7 “Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde? Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
8 Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu, bakungula bizibu.
9 Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa, bamalibwawo obusungu bwe.
10 Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe, n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo, n’obwana bw’empologoma busaasaana.
12 “Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama, ne nkitegera okutu.
13 Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange, obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 Ne buyimirira butengerera, naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo, n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro, ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 ‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda? Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 Obanga abaddu be tabeesiga, nga bamalayika be abalanga ensobi
19 kale kiriba kitya, abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu, ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi, bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda, ne bafa ng’abasirusiru.’”