< Yobu 38 >

1 Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
ויען יהוה את איוב מן הסערה ויאמר׃
2 “Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange, n’ebigambo ebitaliimu magezi?
מי זה מחשיך עצה במלין בלי דעת׃
3 Yambala ebyambalo byo ng’omusajja, mbeeko bye nkubuuza naawe onziremu.
אזר נא כגבר חלציך ואשאלך והודיעני׃
4 “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi? Mbuulira bw’oba otegeera.
איפה היית ביסדי ארץ הגד אם ידעת בינה׃
5 Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba?
מי שם ממדיה כי תדע או מי נטה עליה קו׃
6 Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
על מה אדניה הטבעו או מי ירה אבן פנתה׃
7 Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba, era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
ברן יחד כוכבי בקר ויריעו כל בני אלהים׃
8 ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja, bwe yava mu lubuto lwayo?
ויסך בדלתים ים בגיחו מרחם יצא׃
9 “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo, ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
בשומי ענן לבשו וערפל חתלתו׃
10 bwe n’abiteekerawo we bikoma ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
ואשבר עליו חקי ואשים בריח ודלתים׃
11 bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo, era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?
ואמר עד פה תבוא ולא תסיף ופא ישית בגאון גליך׃
12 “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi, oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
המימיך צוית בקר ידעתה שחר מקמו׃
13 eryoke ekwate ensi w’ekoma eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
לאחז בכנפות הארץ וינערו רשעים ממנה׃
14 Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero, ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
תתהפך כחמר חותם ויתיצבו כמו לבוש׃
15 Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe, n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.
וימנע מרשעים אורם וזרוע רמה תשבר׃
16 “Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka, oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
הבאת עד נבכי ים ובחקר תהום התהלכת׃
17 Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe? Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
הנגלו לך שערי מות ושערי צלמות תראה׃
18 Wali otegedde obugazi bw’ensi? Byogere, oba bino byonna obimanyi.
התבננת עד רחבי ארץ הגד אם ידעת כלה׃
19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa? N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
אי זה הדרך ישכן אור וחשך אי זה מקמו׃
20 Ddala, osobola okubitwala gye bibeera? Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
כי תקחנו אל גבולו וכי תבין נתיבות ביתו׃
21 Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi, kubanga wali wazaalibwa dda!
ידעת כי אז תולד ומספר ימיך רבים׃
22 “Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa, oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
הבאת אל אצרות שלג ואצרות ברד תראה׃
23 Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana, bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
אשר חשכתי לעת צר ליום קרב ומלחמה׃
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira, oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
אי זה הדרך יחלק אור יפץ קדים עלי ארץ׃
25 Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita, oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
מי פלג לשטף תעלה ודרך לחזיז קלות׃
26 Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera, eddungu omutali muntu yenna,
להמטיר על ארץ לא איש מדבר לא אדם בו׃
27 n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika, n’okulimezaako omuddo?
להשביע שאה ומשאה ולהצמיח מצא דשא׃
28 Enkuba erina kitaawe waayo? Ani azaala amatondo ag’omusulo?
היש למטר אב או מי הוליד אגלי טל׃
29 Omuzira guva mu lubuto lw’ani? Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
מבטן מי יצא הקרח וכפר שמים מי ילדו׃
30 amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja, ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?
כאבן מים יתחבאו ופני תהום יתלכדו׃
31 “Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga, oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
התקשר מעדנות כימה או משכות כסיל תפתח׃
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse, oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
התציא מזרות בעתו ועיש על בניה תנחם׃
33 Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu? Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
הידעת חקות שמים אם תשים משטרו בארץ׃
34 “Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire, olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
התרים לעב קולך ושפעת מים תכסך׃
35 Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke? Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
התשלח ברקים וילכו ויאמרו לך הננו׃
36 Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu, oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
מי שת בטחות חכמה או מי נתן לשכוי בינה׃
37 Ani alina amagezi agabala ebire? Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
מי יספר שחקים בחכמה ונבלי שמים מי ישכיב׃
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu, era amafunfugu ne geegattira ddala?
בצקת עפר למוצק ורגבים ידבקו׃
39 “Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya, oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,
התצוד ללביא טרף וחית כפירים תמלא׃
40 bwe zeezinga mu mpuku zaazo, oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
כי ישחו במעונות ישבו בסכה למו ארב׃
41 Ani awa namuŋŋoona emmere, abaana baayo bwe bakaabirira Katonda, nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”
מי יכין לערב צידו כי ילדו אל אל ישועו יתעו לבלי אכל׃

< Yobu 38 >