< Yobu 37 >

1 “Kino kikankanya omutima gwange, ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
At this my heart trembleth, And leapeth out of its place.
2 Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye, n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
Hear, O hear, the thunder of his voice, And the noise which goeth forth from his mouth!
3 Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna, n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
He directeth it under the whole heaven, And his lightning to the ends of the earth.
4 Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
After it the thunder roareth; He thundereth with his voice of majesty, And restraineth it not, when his voice is heard.
5 Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo; akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
God thundereth with his voice marvellously; Great things doeth he, which we cannot comprehend.
6 Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’ ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
For he saith to the snow, “Be thou on the earth!” To the shower also, even the showers of his might.
7 Emirimu gya buli muntu giyimirira, buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
He sealeth up the hand of every man, That all men whom he hath made may acknowledge him.
8 Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo, ne zigenda zeekukuma.
Then the beasts go into dens, And abide in their caverns.
9 Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo, n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
Out of the south cometh the whirlwind, And cold out of the north.
10 Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
By the breath of God ice is formed, And the broad waters become narrow,
11 Ebire abijjuza amatondo g’amazzi, n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
Yea, with moisture he burdeneth the clouds; He spreadeth abroad his lightning-clouds.
12 Byetooloolatooloola nga y’abiragira, ne bituukiriza byonna by’abiragira, ku nsi yonna okubeera abantu.
They move about by his direction, To execute all his commands throughout the world;
13 Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
Whether he cause them to come for punishment, Or for the land, or for mercy.
14 “Wuliriza kino Yobu; sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
Give ear to this, O Job! Stand still, and consider the wondrous works of God!
15 Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire, n’aleetera eggulu okumyansa?
Dost thou know when God gave commandment to them, And caused the lightning of his cloud to flash?
16 Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga, amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
Dost thou understand the balancing of the clouds, The wondrous works of Him that is perfect in knowledge?
17 Ggwe alina ebyambalo ebibuguma, ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
How thy garments become warm, When he maketh the earth still by the south wind?
18 oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu, eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?
Canst thou like him spread out the sky, Which is firm like a molten mirror?
19 “Tubuulire kye tunaamugamba; tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
Teach us what we shall say to him! For we cannot set in order our words by reason of darkness.
20 Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera? Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
Shall it be told him that I would speak? Shall a man speak, that he may be consumed?
21 Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba, olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu, ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
For now men do not look upon the light, When it is bright in the skies, When the wind hath passed over them, and made them clear.
22 Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
From the north cometh gold; But with God is terrible majesty!
23 Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
The Almighty, we cannot find him out; Great is he in power and justice, Abundant in righteousness; he doth not oppress.
24 Noolwekyo abantu bamutya, takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”
Therefore let men fear him! Upon none of the wise in heart will he look.

< Yobu 37 >