< Yobu 36 >
1 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
2 “Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage, nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
3 Amagezi ge nnina gava wala, era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
4 Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu, oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.
5 “Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu; w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
6 Talamya bakozi ba bibi, era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
7 Taggya maaso ge ku batuukirivu, abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
8 Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
9 n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe, nti, beewaggudde,
10 aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 Bwe bamugondera ne bamuweereza, ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima, era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 Naye bwe batamugondera, baalizikirizibwa n’ekitala, bafe nga tebalina magezi.
13 “Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi. Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 Bafiira mu buvubuka bwabwe era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe, n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.
16 “Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona, akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa, omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira; okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa; obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo oba okufuba kwo kwonna binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 Teweegomba budde bwa kiro olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu, by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.
22 “Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge; ani ayigiriza nga ye?
23 Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye, abantu gye bayimba mu nnyimba.
25 Abantu bonna baagiraba, omuntu agirengerera wala.
26 Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe; obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.
27 “Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi, agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 ebire bivaamu amazzi gaabyo, enkuba n’ekuba abantu.
29 Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire, okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30 Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu, era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga, n’agawa emmere mu bungi.
32 Emikono gye agijjuza eraddu, n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33 Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja, n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”