< Yobu 35 >

1 Eriku n’ayongera okwogera nti,
וַיַּ֥עַן אֱלִיה֗וּ וַיֹּאמַֽר׃
2 “Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango. Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
הֲ֭זֹאת חָשַׁ֣בְתָּ לְמִשְׁפָּ֑ט אָ֝מַ֗רְתָּ צִדְקִ֥י מֵאֵֽל׃
3 Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’ Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?
כִּֽי־תֹ֭אמַר מַה־יִּסְכָּן־לָ֑ךְ מָֽה־אֹ֝עִ֗יל מֵֽחַטָּאתִֽי׃
4 “Nandyagadde okukuddamu ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
אֲ֭נִי אֲשִֽׁיבְךָ֣ מִלִּ֑ין וְֽאֶת־רֵעֶ֥יךָ עִמָּֽךְ׃
5 Tunula eri eggulu olabe; tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
הַבֵּ֣ט שָׁמַ֣יִם וּרְאֵ֑ה וְשׁ֥וּר שְׁ֝חָקִ֗ים גָּבְה֥וּ מִמֶּֽךָּ׃
6 Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya? Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
אִם־חָ֭טָאתָ מַה־תִּפְעָל־בּ֑וֹ וְרַבּ֥וּ פְ֝שָׁעֶ֗יךָ מַה־תַּעֲשֶׂה־לּֽוֹ׃
7 Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde, oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
אִם־צָ֭דַקְתָּ מַה־תִּתֶּן־ל֑וֹ א֥וֹ מַה־מִיָּדְךָ֥ יִקָּֽח׃
8 Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe, era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
לְאִישׁ־כָּמ֥וֹךָ רִשְׁעֶ֑ךָ וּלְבֶן־אָ֝דָ֗ם צִדְקָתֶֽךָ׃
9 Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi, balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
מֵ֭רֹב עֲשׁוּקִ֣ים יַזְעִ֑יקוּ יְשַׁוְּע֖וּ מִזְּר֣וֹעַ רַבִּֽים׃
10 Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange atuwa ennyimba ekiro,
וְֽלֹא־אָמַ֗ר אַ֭יֵּה אֱל֣וֹהַּ עֹשָׂ֑י נֹתֵ֖ן זְמִר֣וֹת בַּלָּֽיְלָה׃
11 atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko, era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
מַ֭לְּפֵנוּ מִבַּהֲמ֣וֹת אָ֑רֶץ וּמֵע֖וֹף הַשָּׁמַ֣יִם יְחַכְּמֵֽנוּ׃
12 Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
שָׁ֣ם יִ֭צְעֲקוּ וְלֹ֣א יַעֲנֶ֑ה מִ֝פְּנֵ֗י גְּא֣וֹן רָעִֽים׃
13 Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu; Ayinzabyonna takufaako.
אַךְ־שָׁ֭וְא לֹא־יִשְׁמַ֥ע ׀ אֵ֑ל וְ֝שַׁדַּ֗י לֹ֣א יְשׁוּרֶֽנָּה׃
14 Kale kiba kitya bw’ogamba nti tomulaba, era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge era oteekwa okumulindirira;
אַ֣ף כִּֽי־תֹ֭אמַר לֹ֣א תְשׁוּרֶ֑נּוּ דִּ֥ין לְ֝פָנָ֗יו וּתְח֥וֹלֵֽל לֽוֹ׃
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
וְעַתָּ֗ה כִּי־אַ֭יִן פָּקַ֣ד אַפּ֑וֹ וְלֹֽא־יָדַ֖ע בַּפַּ֣שׁ מְאֹֽד׃
16 Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu; obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”
וְ֭אִיּוֹב הֶ֣בֶל יִפְצֶה־פִּ֑יהוּ בִּבְלִי־דַ֝֗עַת מִלִּ֥ין יַכְבִּֽר׃ פ

< Yobu 35 >