< Yobu 33 >
1 “Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange: ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
2 Laba nnaatera okwasamya akamwa kange, ebigambo byange bindi ku lulimi.
3 Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu; olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
4 Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
5 Onnyanukule nno bw’oba osobola, teekateeka ebigambo byo onjolekere.
6 Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda. Nange nava mu bbumba.
7 Tobaako ky’otya, sijja kukunyigiriza.
8 Ddala ddala oyogedde mpulira, ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
9 Ndi mulongoofu sirina kibi, siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 Kyokka Katonda anteekako omusango, anfudde omulabe we.
11 Asiba ebigere byange mu nvuba, antwala okuba omulabe we.
12 “Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu. Katonda asinga omuntu.
13 Lwaki omwemulugunyiza nti, taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala, wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro ng’otulo tungi tukutte abantu nga beebase ku bitanda byabwe,
16 aggula amatu g’abantu, n’abalabula n’ebyekango,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi n’amalala,
18 aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya, n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.
19 “Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye, n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 Omubiri gwe gugwako ku magumba, n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya; obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 Singa wabaawo malayika ku ludda lwe, amuwolereza, omu ku lukumi, okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti, ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe, mmusasulidde omutango,’
25 omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere, era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa. Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu, Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.
29 “Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu emirundi ebiri oba esatu,
30 okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe, ekitangaala eky’obulamu kimwakire.
31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize; siriikirira nkubuulire.
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu; yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 Bwe kitaba kityo, mpuliriza; sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”