< Yobu 32 >

1 Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu.
Aquellos tres hombres cesaron de replicar a Job, porque él era justo ante sus propios ojos.
2 Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda.
Entonces Eliú, hijo de Baraquel, buzita, de la familia de Ram, se encendió en ira contra Job, porque él se justificaba a sí mismo delante de ʼElohim.
3 Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango.
También se enardeció contra sus tres amigos, porque no hallaron respuesta, sin embargo condenaron a Job.
4 Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga.
Eliú esperó en la disputa con Job, porque ellos eran mayores que él.
5 Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.
Pero al ver Eliú que no había respuesta en la boca de aquellos tres hombres, se encendió en ira.
6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti, “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakulu, kyenavudde ntya okubabuulira kye ndowooza.
Eliú tomó la palabra, hijo de Baraquel, buzita: Yo soy menor y ustedes son ancianos. Por eso me abstuve y temí declararles mi opinión.
7 Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera, n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
Yo pensé: La edad debe hablar. El número de años debe enseñar sabiduría.
8 Kyokka omwoyo oguli mu muntu, nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
Pero el que le da entendimiento es el espíritu en el hombre, el soplo del ʼEL-Shadday.
9 Abakadde si be bokka abalina amagezi, wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.
No son sabios los de mucha edad, ni los ancianos entienden justicia.
10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize, nange mbabuulire kye mmanyi.
Por eso digo: ¡Escúchenme! También yo declararé lo que pienso.
11 Nassizzaayo omwoyo nga mwogera, nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
Ciertamente esperé sus palabras, escuché sus razones mientras buscaban qué decir.
12 Nabawulirizza bulungi. Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu; tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
Les presté atención. Ciertamente no hay alguno de ustedes que redarguya a Job y responda sus razonamientos.
13 Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi; muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
No digan: Hallamos la sabiduría. ʼElohim lo derrotará de manera aplastante, no el hombre.
14 Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze, era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.
Él no dirigió sus palabras contra mí, ni yo le responderé con las palabras de ustedes.
15 “Basobeddwa, tebalina kya kwogera, ebigambo bibaweddeko.
Se desconcertaron, ya no responden. Sus palabras los abandonaron.
16 Kaakano nsirike busirisi, nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
¿Debo esperar porque no hablan, porque cesaron y ya no responden?
17 Nange nnina eky’okwogera, era nnaayogera kye mmanyi,
Yo también responderé mi parte. Yo también expresaré mi opinión,
18 kubanga nzijjudde ebigambo, era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
porque estoy lleno de palabras, y el espíritu me obliga dentro de mí.
19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
Ciertamente mis órganos internos son como vino sin respiradero y están a punto de reventar como odres nuevos.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe, nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
Hablaré y me desahogaré. Abriré mi boca y responderé.
21 Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi, era sijja na kuwaana muntu yenna.
No haré ahora acepción de personas, ni me permitiré adular a algún hombre,
22 Kubanga singa mpaaniriza, Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
porque nunca supe adular. De otra manera, mi Hacedor pronto me consumiría.

< Yobu 32 >