< Yobu 31 >

1 “Nakola endagaano n’amaaso gange; obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
ברית כרתי לעיני ומה אתבונן על בתולה׃
2 Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu, omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
ומה חלק אלוה ממעל ונחלת שדי ממרמים׃
3 Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu, n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
הלא איד לעול ונכר לפעלי און׃
4 Amakubo gange gonna tagalaba, era tamanyi ntambula yange?
הלא הוא יראה דרכי וכל צעדי יספור׃
5 Obanga natambulira mu bulimba era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
אם הלכתי עם שוא ותחש על מרמה רגלי׃
6 leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda amanye obutuukirivu bwange.
ישקלני במאזני צדק וידע אלוה תמתי׃
7 Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo, n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange, engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
אם תטה אשרי מני הדרך ואחר עיני הלך לבי ובכפי דבק מאום׃
8 kale nsige, omulala abirye, weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
אזרעה ואחר יאכל וצאצאי ישרשו׃
9 Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi, oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
אם נפתה לבי על אשה ועל פתח רעי ארבתי׃
10 kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala, n’abasajja abalala beebake naye.
תטחן לאחר אשתי ועליה יכרעון אחרין׃
11 Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve, ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
כי הוא זמה והיא עון פלילים׃
12 Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira, ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”
כי אש היא עד אבדון תאכל ובכל תבואתי תשרש׃
13 “Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi, bwe banninaako ensonga,
אם אמאס משפט עבדי ואמתי ברבם עמדי׃
14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu? Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
ומה אעשה כי יקום אל וכי יפקד מה אשיבנו׃
15 Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda? Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?
הלא בבטן עשני עשהו ויכננו ברחם אחד׃
16 “Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna, era obanga nakaabya nnamwandu;
אם אמנע מחפץ דלים ועיני אלמנה אכלה׃
17 obanga nnali ndidde akamere kange nzekka atalina kitaawe n’atalyako,
ואכל פתי לבדי ולא אכל יתום ממנה׃
18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe, era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
כי מנעורי גדלני כאב ומבטן אמי אנחנה׃
19 Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo, oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
אם אראה אובד מבלי לבוש ואין כסות לאביון׃
20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima, olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
אם לא ברכוני חלצו ומגז כבשי יתחמם׃
21 obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe, kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
אם הניפותי על יתום ידי כי אראה בשער עזרתי׃
22 kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange, leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
כתפי משכמה תפול ואזרעי מקנה תשבר׃
23 Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe, nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.
כי פחד אלי איד אל ומשאתו לא אוכל׃
24 “Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
אם שמתי זהב כסלי ולכתם אמרתי מבטחי׃
25 obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi, oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
אם אשמח כי רב חילי וכי כביר מצאה ידי׃
26 obanga nnali ntunuulidde enjuba, oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
אם אראה אור כי יהל וירח יקר הלך׃
27 omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama, ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
ויפת בסתר לבי ותשק ידי לפי׃
28 era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”
גם הוא עון פלילי כי כחשתי לאל ממעל׃
29 “Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,
אם אשמח בפיד משנאי והתעררתי כי מצאו רע׃
30 sakkiriza kamwa kange kwonoona nga nkolimira obulamu bwe.
ולא נתתי לחטא חכי לשאל באלה נפשו׃
31 Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti, ‘Ani atakkuse nnyama?’
אם לא אמרו מתי אהלי מי יתן מבשרו לא נשבע׃
32 Tewali mutambuze yasula ku kkubo, kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
בחוץ לא ילין גר דלתי לארח אפתח׃
33 Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola, nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
אם כסיתי כאדם פשעי לטמון בחבי עוני׃
34 olw’okutya ekibiina, nga ntya okuswala mu kika, ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
כי אערוץ המון רבה ובוז משפחות יחתני ואדם לא אצא פתח׃
35 so nga waliwo ayinza okumpulira, leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu; n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.
מי יתן לי שמע לי הן תוי שדי יענני וספר כתב איש ריבי׃
36 “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange, nandibyambadde ku mutwe ng’engule.
אם לא על שכמי אשאנו אענדנו עטרות לי׃
37 Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere, nandimusemberedde ng’omulangira.
מספר צעדי אגידנו כמו נגיד אקרבנו׃
38 “Singa ettaka lyange linkaabirira, n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;
אם עלי אדמתי תזעק ויחד תלמיה יבכיון׃
39 obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula, era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
אם כחה אכלתי בלי כסף ונפש בעליה הפחתי׃
40 leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano, n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.” Ebigambo bya Yobu byakoma wano.
תחת חטה יצא חוח ותחת שערה באשה תמו דברי איוב׃

< Yobu 31 >