< Yobu 30 >
1 “Naye kaakano bansekerera; abantu abansinga obuto, bakitaabwe be nnandibadde nteeka wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
2 Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki? Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
3 abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala, bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
4 Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka, enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
5 Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe, ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
6 Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira, mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
7 Baakaabira mu bisaka ng’ensolo ne beekweka mu bikoola by’emiti.
8 Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa, baagobebwa mu nsi.
9 Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba; nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 abatanjagala abanneesalako, banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi; beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo; bategera ebigere byange emitego, ne baziba amakubo banzikirize.
13 Banzingiza ne banzikiriza, nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi, bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi; ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo, era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”
16 “Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo, ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka, n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 Ansuula mu bitosi, ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.
20 “Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu; nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 Onkyukira n’obusungu; onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo, n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 Mmanyi nga olintuusa mu kufa, mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
24 “Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 Saakaabira abo abaali mu buzibu? Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja; bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 Nfuuse muganda w’ebibe, munne w’ebiwuugulu.
30 Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka; n’omubiri gwange gwokerera.
31 Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”