< Yobu 3 >
1 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa.
2 N’agamba nti,
3 “Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire, n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4 Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza, omusana guleme okulwakako, Katonda aleme okulufaako.
5 Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule, ekire kirutuuleko, ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6 Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage, luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka, wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7 Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
8 Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire, n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9 Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange, nneme okulaba obuyinike.
11 “Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako era n’amabeere okugayonka?
13 Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde, nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi, abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 oba n’abalangira abaalina zaabu, abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, atalabye ku kitangaala?
17 Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era n’abakooye gye bawummulira.
18 Abasibe gye bawummulira awamu, gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 Abakopi n’abakungu gye babeera; abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
20 “Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala, ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja, n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 abajaguza ekisukkiridde, ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gw’akomedde?
24 Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya, n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 Ekintu kye nantiiranga ddala era kye nakyawa kye kyantukako.
26 Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe, wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”