< Yobu 29 >
1 Yobu n’ayongera okwogera nti,
2 “Nga nneegomba emyezi egyayita, ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
3 ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange, n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
4 Mu biro we nabeerera ow’amaanyi, omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
5 Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
6 n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.
7 “Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
8 abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali, abakadde ne basituka ne bayimirira;
9 abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera, ne bakwata ne ku mimwa;
10 ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera, ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima, era n’abo abandabanga nga basiima
12 kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi, n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa, ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange, obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 Nnali maaso g’abamuzibe era ebigere by’abalema.
16 Nnali kitaawe w’abanaku, ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi, ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.
18 “Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 Omulandira gwange gulituuka mu mazzi, era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze, n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’
21 “Abantu beesunganga okumpuliriza, nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera, ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’enkuba ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza; ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 Nabasalirangawo eky’okukola, ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge; nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”