< Yobu 28 >

1 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza, n’ekifo gye balongooseza effeeza.
כי יש לכסף מוצא ומקום לזהב יזקו׃
2 Ekyuma kisimibwa mu ttaka, n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
ברזל מעפר יקח ואבן יצוק נחושה׃
3 Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi, asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
קץ שם לחשך ולכל תכלית הוא חוקר אבן אפל וצלמות׃
4 Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera, mu bifo eteyita bantu, ewala okuva abantu gye bayita.
פרץ נחל מעם גר הנשכחים מני רגל דלו מאנוש נעו׃
5 Ensi evaamu emmere, naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
ארץ ממנה יצא לחם ותחתיה נהפך כמו אש׃
6 Safira eva mu mayinja gaayo, era enfuufu yaayo erimu zaabu.
מקום ספיר אבניה ועפרת זהב לו׃
7 Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino, wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
נתיב לא ידעו עיט ולא שזפתו עין איה׃
8 Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo, tewali mpologoma yali eyiseeyo.
לא הדריכהו בני שחץ לא עדה עליו שחל׃
9 Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale, n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
בחלמיש שלח ידו הפך משרש הרים׃
10 Asima ensalosalo ku njazi; n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
בצורות יארים בקע וכל יקר ראתה עינו׃
11 Anoonya wansi mu migga, n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.
מבכי נהרות חבש ותעלמה יצא אור׃
12 “Naye amagezi gasangibwa wa? Okutegeera kuva wa?
והחכמה מאין תמצא ואי זה מקום בינה׃
13 Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago; tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
לא ידע אנוש ערכה ולא תמצא בארץ החיים׃
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’ ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
תהום אמר לא בי היא וים אמר אין עמדי׃
15 Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi, wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
לא יתן סגור תחתיה ולא ישקל כסף מחירה׃
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri, mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
לא תסלה בכתם אופיר בשהם יקר וספיר׃
17 Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana: so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
לא יערכנה זהב וזכוכית ותמורתה כלי פז׃
18 Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako; omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
ראמות וגביש לא יזכר ומשך חכמה מפנינים׃
19 Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana, tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.
לא יערכנה פטדת כוש בכתם טהור לא תסלה׃
20 “Kale amagezi gava ludda wa? N’okutegeera kubeera ludda wa?
והחכמה מאין תבוא ואי זה מקום בינה׃
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu, era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
ונעלמה מעיני כל חי ומעוף השמים נסתרה׃
22 Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti, ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
אבדון ומות אמרו באזנינו שמענו שמעה׃
23 Katonda ategeera ekkubo erigatuukako era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
אלהים הבין דרכה והוא ידע את מקומה׃
24 kubanga alaba enkomerero y’ensi era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
כי הוא לקצות הארץ יביט תחת כל השמים יראה׃
25 Bwe yateekawo amaanyi g’empewo, n’apima n’amazzi,
לעשות לרוח משקל ומים תכן במדה׃
26 bwe yateekera enkuba etteeka era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
בעשתו למטר חק ודרך לחזיז קלות׃
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira; n’agateekawo, n’agagezesa.
אז ראה ויספרה הכינה וגם חקרה׃
28 N’agamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’”
ויאמר לאדם הן יראת אדני היא חכמה וסור מרע בינה׃

< Yobu 28 >