< Yobu 27 >
1 Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,
2 “Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima, oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
3 gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze, omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
4 emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu, era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
5 Sirikkiriza nti muli batuufu; okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
6 Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka; omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.
7 “Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi, n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
8 Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako, nga Katonda amuggyeko obulamu?
9 Katonda awulira okukaaba kwe ng’ennaku emujjidde?
10 Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna? Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
11 Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda; ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
12 Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko, lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?
13 “Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi, omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
14 Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala; ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
15 Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa, ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16 Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu, n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
17 ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala, era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
18 Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo; ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
19 Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo, kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
20 Entiisa erimuzingako ng’amataba; kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
21 Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda; emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
22 Emukuba awatali kusaasira, ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
23 Erimukubira engalo zaayo, n’emusiiya okuva mu kifo kye.”