< Yobu 26 >
1 Awo Yobu n’addamu nti,
2 “Ng’oyambye oyo atalina maanyi! Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
3 Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi! Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
4 Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo? Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?
5 “Abafu kye balimu tekigumiikirizika, n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
6 Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda; n’okuzikiriza tekulina kikubisse. (Sheol )
7 Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere, awanika ensi awatali kigiwanirira.
8 Asiba amazzi mu bire bye; ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
9 Abikka obwenyi bw’omwezi, agwanjululizaako ebire bye.
10 Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita, ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana, zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe, n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu, omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”