< Yobu 25 >

1 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,
叔亞人彼耳達得發言說:
2 “Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda; ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
權能和威嚴為他所有,他在高天締造和平。
3 Amaggye ge gasobola okubalibwa? Ani atayakirwa musana gwe?
他的隊伍,豈可勝數﹖他的光明升起,誰不蒙受照耀﹖
4 Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda? Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
人在天主面前,怎能自以為義﹖婦人所生的,怎能自稱潔淨﹖
5 Laba n’omwezi tegulina bye gwaka, n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
在他眼中,月亮都不明亮,星辰也不皎潔,
6 Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu, omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”
何況像蟲的人,像蛆的人子!

< Yobu 25 >