< Yobu 24 >
1 “Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera? Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
Por que os tempos não são marcados pelo Todo-Poderoso? Por que os que o conhecem não veem seus dias?
2 Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo, ne balunda ebisolo bye babbye.
Há os que mudam os limites de lugar, roubam rebanhos, e os apascentam.
3 Batwala endogoyi ya mulekwa ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
Levam o asno do órfão; penhoram o boi da viúva.
4 Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo, ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
Desviam do caminho aos necessitados; os pobres da terra juntos se escondem.
5 Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa, n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere; mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
Eis que como asnos selvagens no deserto eles saem a seu trabalho buscando insistentemente por comida; o deserto dá alimento a ele [e a seus] filhos.
6 Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye, ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
No campo colhem sua forragem, e vindimam a vinha do perverso.
7 Olw’okubulwa engoye, basula bwereere; tebalina kye beebikka mu mpewo.
Passam a noite nus, por falta de roupa; sem terem coberta contra o frio.
8 Enkuba y’oku nsozi ebatobya, ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
Pelas correntes das montanhas são molhados e, não tendo abrigo, abraçam-se às rochas.
9 Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere; omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
[Há os que] arrancam ao órfão do peito, e do pobre tomam penhor.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere; betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
Ao nus fazem andar sem vestes, e fazem os famintos carregarem feixes.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja, ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
Entre suas paredes espremem o azeite; pisam nas prensas de uvas, e [ainda] têm sede.
12 Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga, n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi. Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
Desde a cidade as pessoas gemem, e as almas dos feridos clamam; Mas Deus não dá atenção ao erro.
13 “Waliwo abo abajeemera omusana, abatamanyi makubo ge, abatasigala mu kwaka kwagwo.
Há os que se opõem à luz; não conhecem seus caminhos, nem permanecem em suas veredas.
14 Omutemu agolokoka nga obudde buzibye n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga; ekiro abbira ddala.
De manhã o homicida se levanta, mata ao pobre e ao necessitado, e de noite ele age como ladrão.
15 Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe, ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’ n’abikka ne ku maaso ge.
O olho do adúltero aguarda o crepúsculo, dizendo: Olho nenhum me verá; E esconde seu rosto.
16 Mu kizikiza mwe basimira amayumba, kyokka emisana baba beggalidde. Tebaagala kitangaala.
Nas trevas vasculham as casas, de dia eles se trancam; não conhecem a luz.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya. Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
Porque a manhã é para todos eles como sombra de morte; pois são conhecidos dos pavores de sombra de morte.
18 Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi, era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi. Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
Ele é ligeiro sobre a superfície das águas; maldita é sua porção sobre a terra; não se vira para o caminho das vinhas.
19 Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe. (Sheol )
A seca e o calor desfazem as águas da neve; assim [faz] o Xeol aos que pecaram. (Sheol )
20 Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa. Tajjukirwenga nate, omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
A mãe se esquecerá dele; doce será para os vermes; nunca mais haverá memória [dele], e a perversidade será quebrada como um árvore.
21 Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala. Tebakolera nnamwandu bya kisa.
Aflige à mulher estéril, [que] não dá à luz; e nenhum bem faz à viúva.
22 Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe. Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
Mas [Deus] arranca aos poderosos com seu poder; [quando] Deus se levanta, não há vida segura.
23 Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
Se ele lhes dá descanso, nisso confiam; [mas] os olhos de [Deus] estão [postos] nos caminhos deles.
24 Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo. Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna. Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
São exaltados por um pouco [de tempo], mas [logo] desaparecem; são abatidos, encerrados como todos, e cortados como cabeças das espigas.
25 “Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba, n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Se não é assim, quem me desmentirá, ou anulará minhas palavras?