< Yobu 23 >
1 Awo Yobu n’addamu nti,
2 “N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala, omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3 Singa nnali mmanyi aw’okumusanga nandisobodde okulaga gy’abeera!
4 Nanditutte empoza yange gy’ali, akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5 Nanditegedde kye yandinzizeemu, ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6 Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi? Nedda, teyandinteeseko musango.
7 Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye, era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
8 “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo; ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9 Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba, bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
10 Naye amanyi amakubo mwe mpita, bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11 Ebigere byange bimugoberedde; ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12 Saava ku biragiro by’akamwa ke. Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13 “Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya? Akola kyonna ekimusanyusa.
14 Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza, era bingi byategese by’akyaleeta.
15 Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge; bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16 Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange, Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17 Naye ekizikiza tekinsirisizza, ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”