< Yobu 22 >

1 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
ויען אליפז התמני ויאמר
2 “Omuntu ayinza okugasa Katonda? Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
הלאל יסכן-גבר-- כי-יסכן עלימו משכיל
3 Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu? Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
החפץ לשדי כי תצדק ואם-בצע כי-תתם דרכיך
4 “Akukangavvula lwa kumutya era kyava akuvunaana?
המיראתך יכיחך יבוא עמך במשפט
5 Okwonoona kwo si kunene nnyo? Ebibi byo si bingi nnyo?
הלא רעתך רבה ואין-קץ לעונתיך
6 Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
כי-תחבל אחיך חנם ובגדי ערומים תפשיט
7 Tewawa bakoowu mazzi, abaagala wabamma emmere,
לא-מים עיף תשקה ומרעב תמנע-לחם
8 wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka, omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
ואיש זרוע לו הארץ ונשוא פנים ישב בה
9 Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde; abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
אלמנות שלחת ריקם וזרעות יתמים ידכא
10 Emitego kyegivudde gikwetooloola. Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
על-כן סביבותיך פחים ויבהלך פחד פתאם
11 Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba, era lwaki amataba gakubikkako?
או-חשך לא-תראה ושפעת-מים תכסך
12 “Katonda tali waggulu mu ggulu? Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
הלא-אלוה גבה שמים וראה ראש כוכבים כי-רמו
13 Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki? Ayinza okulamulira mu kizikiza?
ואמרת מה-ידע אל הבעד ערפל ישפוט
14 Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
עבים סתר-לו ולא יראה וחוג שמים יתהלך
15 Onoosigala mu kkubo ery’edda abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
הארח עולם תשמור-- אשר דרכו מתי-און
16 Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka, emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
אשר-קמטו ולא-עת נהר יוצק יסודם
17 Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe! Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
האמרים לאל סור ממנו ומה-יפעל שדי למו
18 Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi, noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
והוא מלא בתיהם טוב ועצת רשעים רחקה מני
19 Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza; abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
יראו צדיקים וישמחו ונקי ילעג-למו
20 ‘Ddala abalabe baffe bazikiridde, era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
אם-לא נכחד קימנו ויתרם אכלה אש
21 “Gonderanga Katonda ofunenga emirembe; mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
הסכן-נא עמו ושלם בהם תבואתך טובה
22 Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
קח-נא מפיו תורה ושים אמריו בלבבך
23 Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya, bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
אם-תשוב עד-שדי תבנה תרחיק עולה מאהלך
24 n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka, zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
ושית-על-עפר בצר ובצור נחלים אופיר
25 awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi.
והיה שדי בצריך וכסף תועפות לך
26 Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda.
כי-אז על-שדי תתענג ותשא אל-אלוה פניך
27 Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo.
תעתיר אליו וישמעך ונדריך תשלם
28 Ky’olisalawo kirikolebwa, era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
ותגזר-אמר ויקם לך ועל-דרכיך נגה אור
29 Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’ Olwo alirokola abagudde.
כי-השפילו ותאמר גוה ושח עינים יושע
30 Alinunula n’oyo aliko omusango, alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”
ימלט אי-נקי ונמלט בבר כפיך

< Yobu 22 >