< Yobu 21 >
1 Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
2 “Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange, era kino kibazzeemu amaanyi.
3 Mungumiikirizeeko nga njogera, oluvannyuma museke.
4 “Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu? Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5 Muntunuulire mwewuunye, mujja kukwata ne ku mumwa.
6 Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa; omubiri gwange ne gukankana.
7 Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala, ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
8 Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa, ezzadde lyabwe nga balaba.
9 Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya; omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10 Ennume zaabwe teziremererwa, ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11 Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo; obuto ne bubeera mu kuzina.
12 Bayimbira ku bitaasa n’ennanga, ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
13 Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi, mangwago ne bakka mu ntaana. (Sheol )
14 Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe! Tetwegomba kumanya makubo go.
15 Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze? Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16 Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe, noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.
17 “Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka? Ennaku ebajjira emirundi emeka? Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18 Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo; ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19 Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe. Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20 Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira; leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21 Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese, nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
22 “Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi, kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi, nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24 omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi, amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25 Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima, nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26 Ne beebaka kye kimu mu ttaka, envunyu ne zibabikka bombi.
27 “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza, enkwe ze mwagala okunsalira.
28 Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi, eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29 Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo? Temukkiriza bye babagamba,
30 nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana, era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31 Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso, ani amusasula ebyo by’akoze?
32 Atwalibwa ku ntaana, era amalaalo ge gakuumibwa.
33 Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera, abantu bonna bamugoberera, n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
34 “Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”