< Yobu 19 >
1 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya n’ebigambo?
3 Emirundi kkumi nga munvuma; temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4 Bwe kiba nga kituufu nti nawaba, obukyamu bwange, bwange nzekka.
5 Bwe muba munneegulumiririzaako ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6 mumanye nga Katonda ankoze bubi era anzingizza mu kitimba kye.
7 “Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8 Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita; amakubo gange agalese mu kizikiza.
9 Anziggyeeko ekitiibwa kyange n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu, asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 Obusungu bwe bumbubuukirako; ambala ng’omu ku balabe be.
12 Amaggye ge galumba n’amaanyi; ganzimbako enkomera ne gagumba okwetooloola weema yange.
13 “Anziggyeeko baganda bange; abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala, mikwano gyange ginneerabidde.
15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi, ne bandaba nga munnagwanga.
16 Mpita omuddu wange naye tawulira, wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange; nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 N’obulenzi obuto bunsekerera; buli lwe bundaba bunvuma.
19 Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa; abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka.
21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa, kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala?
23 “Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa, Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 nze mwene ndimulaba, n’amaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala, olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”