< Yobu 17 >
1 Omutima gwange gwennyise, ennaku zange zisalibbwaako, entaana enninze.
我的心灵消耗,我的日子灭尽; 坟墓为我预备好了。
2 Ddala abansekerera bannetoolodde; amaaso gange gabeekengera.
真有戏笑我的在我这里, 我眼常见他们惹动我。
3 “Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba. Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
愿主拿凭据给我,自己为我作保。 在你以外谁肯与我击掌呢?
4 Ozibye emitima gyabwe obutategeera; noolwekyo toobakkirize kuwangula.
因你使他们心不明理, 所以你必不高举他们。
5 Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
控告他的朋友、以朋友为可抢夺的, 连他儿女的眼睛也要失明。
6 “Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu, anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
神使我作了民中的笑谈; 他们也吐唾沫在我脸上。
7 Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala; omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
我的眼睛因忧愁昏花; 我的百体好像影儿。
8 Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino; atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
正直人因此必惊奇; 无辜的人要兴起攻击不敬虔之辈。
9 Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe, n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
然而,义人要持守所行的道; 手洁的人要力上加力。
10 “Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje, naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
至于你们众人,可以再来辩论吧! 你们中间,我找不着一个智慧人。
11 Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese, era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
我的日子已经过了; 我的谋算、我心所想望的已经断绝。
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana; mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
他们以黑夜为白昼, 说:亮光近乎黑暗。
13 Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza, (Sheol )
我若盼望阴间为我的房屋, 若下榻在黑暗中, (Sheol )
14 ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’ era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
若对朽坏说:你是我的父; 对虫说:你是我的母亲姊妹;
15 kale essuubi lyange liba ludda wa? Ani ayinza okuliraba?
这样,我的指望在哪里呢? 我所指望的谁能看见呢?
16 Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?” (Sheol )
等到安息在尘土中, 这指望必下到阴间的门闩那里了。 (Sheol )