< Yobu 15 >

1 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
וַיַּעַן אֱלִיפַז הַֽתֵּימָנִי וַיֹּאמַֽר׃
2 “Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu, oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
הֶֽחָכָם יַעֲנֶה דַֽעַת־רוּחַ וִֽימַלֵּא קָדִים בִּטְנֽוֹ׃
3 Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa, oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
הוֹכֵחַ בְּדָבָר לֹא יִסְכּוֹן וּמִלִּים לֹא־יוֹעִיל בָּֽם׃
4 Naye onyooma Katonda n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
אַף־אַתָּה תָּפֵר יִרְאָה וְתִגְרַע שִׂיחָה לִפְנֵי־אֵֽל׃
5 Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
כִּי יְאַלֵּף עֲוֺנְךָ פִיךָ וְתִבְחַר לְשׁוֹן עֲרוּמִֽים׃
6 Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze, emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.
יַרְשִֽׁיעֲךָ פִיךָ וְלֹא־אָנִי וּשְׂפָתֶיךָ יַעֲנוּ־בָֽךְ׃
7 “Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
הֲרִאישׁוֹן אָדָם תִּוָּלֵד וְלִפְנֵי גְבָעוֹת חוֹלָֽלְתָּ׃
8 Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda? Olowooza gwe mugezi wekka?
הַבְסוֹד אֱלוֹהַ תִּשְׁמָע וְתִגְרַע אֵלֶיךָ חָכְמָֽה׃
9 Kiki ky’omanyi kye tutamanyi? Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
מַה־יָּדַעְתָּ וְלֹא נֵדָע תָּבִין וְֽלֹא־עִמָּנוּ הֽוּא׃
10 Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe, abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
גַּם־שָׂב גַּם־יָשִׁישׁ בָּנוּ כַּבִּיר מֵאָבִיךָ יָמִֽים׃
11 Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala, ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
הַמְעַט מִמְּךָ תַּנְחֻמוֹת אֵל וְדָבָר לָאַט עִמָּֽךְ׃
12 Lwaki omutima gwo gukubuzizza, amaaso go ne gatemereza
מַה־יִּקָּחֲךָ לִבֶּךָ וּֽמַה־יִּרְזְמוּן עֵינֶֽיךָ׃
13 n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda, n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?
כִּֽי־תָשִׁיב אֶל־אֵל רוּחֶךָ וְהֹצֵאתָ מִפִּיךָ מִלִּֽין׃
14 “Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu, oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
מָֽה־אֱנוֹשׁ כִּֽי־יִזְכֶּה וְכִֽי־יִצְדַּק יְלוּד אִשָּֽׁה׃
15 Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be, n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
הֵן בקדשו בִּקְדֹשָׁיו לֹא יַאֲמִין וְשָׁמַיִם לֹא־זַכּוּ בְעֵינָֽיו׃
16 oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu, anywa obutali butuukirivu nga amazzi!
אַף כִּֽי־נִתְעָב וְֽנֶאֱלָח אִישׁ־שֹׁתֶה כַמַּיִם עַוְלָֽה׃
17 “Mpuliriza nnaakunnyonnyola, leka nkubuulire kye ndabye:
אֲחַוְךָ שְֽׁמַֽע־לִי וְזֶֽה־חָזִיתִי וַאֲסַפֵּֽרָה׃
18 abasajja ab’amagezi kye bagambye nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
אֲשֶׁר־חֲכָמִים יַגִּידוּ וְלֹא כִֽחֲדוּ מֵאֲבוֹתָֽם׃
19 abo bokka abaweebwa ensi nga tewali mugwira agiyitamu.
לָהֶם לְבַדָּם נִתְּנָה הָאָרֶץ וְלֹא־עָבַר זָר בְּתוֹכָֽם׃
20 Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna, n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
כָּל־יְמֵי רָשָׁע הוּא מִתְחוֹלֵל וּמִסְפַּר שָׁנִים נִצְפְּנוּ לֶעָרִֽיץ׃
21 Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge; byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
קוֹל־פְּחָדִים בְּאָזְנָיו בַּשָּׁלוֹם שׁוֹדֵד יְבוֹאֶֽנּוּ׃
22 Atya okuva mu kizikiza adde, ekitala kiba kimulinze okumusala.
לֹא־יַאֲמִין שׁוּב מִנִּי־חֹשֶׁךְ וצפו וְצָפוּי הוּא אֱלֵי־חָֽרֶב׃
23 Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya, amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
נֹדֵד הוּא לַלֶּחֶם אַיֵּה יָדַע ׀ כִּֽי־נָכוֹן בְּיָדוֹ יֽוֹם־חֹֽשֶׁךְ׃
24 Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira, bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
יְֽבַעֲתֻהוּ צַר וּמְצוּקָה תִּתְקְפֵהוּ כְּמֶלֶךְ ׀ עָתִיד לַכִּידֽוֹר׃
25 Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde, ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
כִּֽי־נָטָה אֶל־אֵל יָדוֹ וְאֶל־שַׁדַּי יִתְגַּבָּֽר׃
26 n’agenda n’ekyejo amulumbe, n’engabo ennene enzito.
יָרוּץ אֵלָיו בְּצַוָּאר בַּעֲבִי גַּבֵּי מָֽגִנָּֽיו׃
27 “Wadde nga yenna yagejja amaaso ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
כִּֽי־כִסָּה פָנָיו בְּחֶלְבּוֹ וַיַּעַשׂ פִּימָה עֲלֵי־כָֽסֶל׃
28 wakubeera mu bibuga eby’amatongo, ne mu bifulukwa, ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
וַיִּשְׁכּוֹן ׀ עָרִים נִכְחָדוֹת בָּתִּים לֹא־יֵשְׁבוּ לָמוֹ אֲשֶׁר הִתְעַתְּדוּ לְגַלִּֽים׃
29 Taddeyo kugaggawala, n’obugagga bwe tebulirwawo, n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
לֹֽא־יֶעְשַׁר וְלֹא־יָקוּם חֵילוֹ וְלֹֽא־יִטֶּה לָאָרֶץ מִנְלָֽם׃
30 Taliwona kizikiza, olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge, era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
לֹֽא־יָסוּר ׀ מִנִּי־חֹשֶׁךְ יֹֽנַקְתּוֹ תְּיַבֵּשׁ שַׁלְהָבֶת וְיָסוּר בְּרוּחַ פִּֽיו׃
31 Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
אַל־יַאֲמֵן בשו בַּשָּׁיו נִתְעָה כִּי־שָׁוְא תִּהְיֶה תְמוּרָתֽוֹ׃
32 Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka, n’amatabi ge tegalikula.
בְּֽלֹא־יוֹמוֹ תִּמָּלֵא וְכִפָּתוֹ לֹא רַעֲנָֽנָה׃
33 Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera, ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
יַחְמֹס כַּגֶּפֶן בִּסְרוֹ וְיַשְׁלֵךְ כַּזַּיִת נִצָּתֽוֹ׃
34 Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba, era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
כִּֽי־עֲדַת חָנֵף גַּלְמוּד וְאֵשׁ אָכְלָה אָֽהֳלֵי־שֹֽׁחַד׃
35 Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu, embuto zaabwe zizaala obulimba.”
הָרֹה עָמָל וְיָלֹד אָוֶן וּבִטְנָם תָּכִין מִרְמָֽה׃

< Yobu 15 >