< Yobu 13 >
1 “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
視よわが目これを盡く觀 わが耳これを聞て通逹れり
2 Kye mumanyi nange kye mmanyi; siri wa wansi ku mmwe.
汝らが知るところは我もこれを知る 我は汝らに劣らず
3 Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna, era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
然りと雖ども我は全能者に物言ん 我は神と論ぜんことをのぞむ
4 Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
汝らは只謊言を造り設くる者 汝らは皆無用の醫師なり
5 Kale singa musirika! Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
願くは汝ら全く默せよ 然するは汝らの智慧なるべし
6 Muwulire kaakano endowooza yange, muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
請ふわが論ずる所を聽き 我が唇にて辨爭そふ所を善く聽け
7 Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu? Munaamwogerera eby’obulimba?
神のために汝ら惡き事を言や 又かれのために虚僞を述るや
8 Munaamulaga ng’ataliiko luuyi, munaamuwoleza ensonga ze.
汝ら神の爲に偏るや またかれのために爭はんとするや
9 Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi? Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
神もし汝らを鑒察たまはば豈善らんや 汝等人を欺むくごとくに彼を欺むき得んや
10 Tayinza butakunenya, singa osaliriza mu bubba.
汝等もし密に私しするあらば彼かならず汝らを責ん
11 Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza? Entiisa ye teyandikuguddeko?
その威光なんぢらを懼れしめざらんや 彼を懼るる畏懼なんぢらに臨まざらんや
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
なんぢらの諭言は灰に譬ふべし なんぢらの城は土の城となる
13 Musirike nze njogere; kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
默して我にかかはらざれ 我言語んとす 何事にもあれ我に來らば來れ
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana, obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
我なんぞ我肉をわが齒の間に置き わが生命をわが手に置かんや
15 Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi, ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
彼われを殺すとも我は彼に依頼まん 唯われは吾道を彼の前に明かにせんとす
16 Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange, kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
彼また終に我救拯とならん 邪曲なる者は彼の前にいたること能はざればなり
17 Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza; amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
なんぢら聽よ 我言を聽け我が述る所をなんぢらの耳に入しめよ
18 Kaakano nga bwe ntegese empoza yange, mmanyi nti nzija kwejeerera.
視よ我すでに吾事を言竝べたり 必ず義しとせられんと自ら知る
19 Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa? Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
誰か能くわれと辨論ふ者あらん 若あらば我は口を緘て死ん
20 Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda, awo sijja kukwekweka.
惟われに二の事を爲たまはざれ 然ば我なんぢの面をさけて隱れじ
21 Nzigyako omukono gwo, olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
なんぢの手を我より離したまへ 汝の威嚴をもて我を懼れしめたまはざれ
22 Kale nno ompite nzija kukuddamu, oba leka njogere ggwe onziremu.
而して汝われを召したまへ 我こたへん 又われにも言はしめて汝われに答へたまへ
23 Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
我の愆われの罪いくばくなるや 我の背反と罪とを我に知しめたまへ
24 Lwaki okweka amaaso go, n’onfuula omulabe wo?
何とて御顏を隱し我をもて汝の敵となしたまふや
25 Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga? Onooyigga ebisasiro ebikaze?
なんぢは吹廻さるる木の葉を威し 干あがりたる籾殼を追ひたまふや
26 Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma, n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
汝は我につきて苦き事等を書しるし 我をして我が幼稚時の罪を身に負しめ
27 Oteeka ebigere byange mu nvuba, era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
わが足を足械にはめ 我すべての道を伺ひ我足の周圍に限界をつけたまふ
28 Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu, ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”
我は腐れたる者のごとくに朽ゆき 蠹に食るる衣服に等し