< Yobu 11 >
1 Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,
And Zophar the Naamathite answers and says:
2 “Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu? Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
“Is a multitude of words not answered? And is a man of lips justified?
3 Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa? Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
Your boastings make men keep silent, You scorn, and none is causing blushing!
4 Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi, era ndi mutukuvu mu maaso go.’
And you say, My discourse [is] pure, And I have been clean in Your eyes.
5 Naye, singa Katonda ayogera, singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
And yet, O that God had spoken! And opens His lips with you.
6 n’akubikkulira ebyama by’amagezi; kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri. Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
And declares to you secrets of wisdom, for counsel has foldings. And know that God forgets of your iniquity for you.
7 “Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
Do you find out God by searching? To perfection find out the Mighty One?
8 Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola? Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya? (Sheol )
Heights of the heavens—what [can] you do? Deeper than Sheol—what [can] you know? (Sheol )
9 Obuwanvu bwabyo businga ensi era bugazi okusinga ennyanja.
Its measure [is] longer than earth, and broader than the sea.
10 “Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko, ani ayinza okumuwakanya?
If He passes on, and shuts up, and assembles, Who then reverses it?
11 Mazima ddala amanya abantu abalimba. Bw’alaba ebibi, tabifaako?
For He has known men of vanity, And He sees iniquity, And one does not consider [it]!
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi, ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
And empty man is bold, And man is born [as] the colt of a wild donkey.
13 “Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali, n’ogolola emikono gyo gy’ali,
If you have prepared your heart, And have spread out your hands to Him,
14 singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo, n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
If iniquity [is] in your hand, put it far off, And do not let perverseness dwell in your tents.
15 olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi, era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
For then you lift up your face from blemish, And you have been firm, and do not fear.
16 Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo, olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
For you forget misery, As waters passed away you remember.
17 Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu, n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
And age rises above the noon, You fly—you are as the morning.
18 Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi; olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
And you have trusted because there is hope, And searched—in confidence you lie down,
19 Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa, era bangi abalikunoonyaako omukisa.
And you have rested, And none is causing trembling, And many have begged [at] your face;
20 Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa, era tebalisobola kuwona, essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”
And the eyes of the wicked are consumed, And refuge has perished from them, And their hope [is] a breathing out of soul!”