< Yeremiya 8 >
1 “Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago.
到那時──上主的斸語──人必從墳墓中拖出猶大君王的遺骸,司祭的遺骸,先知的遺骸,和耶路撒冷居民的遺骸,
2 Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka.
陳列在他們曾愛戀、事奉、追隨、求問和朝拜過的太陽、月亮和天上群星,前再沒有人收殮埋葬,任其留在地面充作肥料。
3 N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
這可惡種族剩下的全體遺民,在我驅逐他們所到的任何地,方都願意死,而不願意生──萬軍上主斷語。
4 “Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omuntu bw’agwa, tayimuka? Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
你應對他們說:上主這樣說:人跌倒了,豈能不再起來﹖人離去了,豈能不再回來﹖
5 Kale lwaki abantu bange bano banvaako ne bagendera ddala?
為什麼這人民一墮落,便永久墮落,執迷不悟而不肯反悔呢﹖
6 Nawuliriza n’obwegendereza naye tebayogera mazima; tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti, ‘Kiki kino kye nkoze?’ Buli muntu akwata kkubo lye ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
我留心細聽,他們都言談不軌,沒有一個人悔恨自己的邪惡說:「可憐! 我做是什麼事﹖」反倒各自一再任性奔馳,有如衝入戰場的戰馬。
7 Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga bimanyi ebiseera mwe bitambulira; ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya bimanyi ebiseera mwe bikomerawo, naye abantu bange tebamanyi biragiro bya Mukama.”
天空的鸛鳥也知道自己的時令;斑鳩、燕子和雁,都固守自己的歸期;但是我的人民卻不知道上主法令。
8 Muyinza mutya okwogera nti, “Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina, ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba yeebikyusizza.
你怎麼能說:我們是智者,我們有上主的法律﹖的確,但已為書記們以荒謬的筆鋒把乇編成了謊言。
9 Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa era balitwalibwa. Bagaanyi ekigambo kya Mukama, magezi ki ge balina?
智慧人必要蒙羞驚慌,而至被捕;的確,他們即拋棄了上主話,還能有什麼智慧﹖
10 Noolwekyo bakazi baabwe ndibagabira abasajja abalala n’ennimiro zaabwe zitwalibwe abantu abalala. Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu, nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
為此,我必將他們的妻室交給外人,將他們的莊田交與別的地主,因為從最小的到最大的,都貪財圖利;從先知到司祭,都欺詐行事,
11 Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo, babikomya kungulu nga boogera nti, Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
草率治愈我的瘡痍說:「好了! 好了! 」其實卻沒有好。
12 Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve? Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde, so tebamanyi wadde okulimbalimba. Noolwekyo baligwira mu bagudde, balikka lwe balibonerezebwa,” bw’ayogera Mukama.
他們既行事可憎,就理當知恥;可是,他們不但不知恥,反而連羞愧也不知是什麼;為此,他們要與倒斃者倒斃,在我降罰他們時,都要一厥不振──上主說。
13 “Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,” bw’ayogera Mukama. Tewaliba zabbibu, na mutiini, n’ebikoola byabwe biriwotoka. Bye mbawadde biribaggyibwako.
我要徹底消滅他們──上主的斷語──葡萄樹上沒有葡萄,無花果樹上沒有無花果,樹葉都已凋零;我要派人來蹂躝。
14 Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza? Mukuŋŋaane. Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe tuzikiririre eyo. Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe, kubanga twonoonye mu maaso ge.
為什麼我們還坐著﹖集合起來吧! 讓我們進入堅城,死在那裏,因為上主我們的天主要消滅我們,我們喝苦膽,因為我們得罪了上主。
15 Twasuubira mirembe naye tewali bulungi bwajja; twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa naye waaliwo ntiisa.
我們原期待和平,卻不見好轉;原期待復興的時機,反而只見恐怖!
16 Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani; ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi. Bajja okuzikiriza ensi ne byonna ebigirimu, ekibuga ne bonna abakibeeramu.
從丹就可聽到敵人戰馬的喘息聲,戰馬嘶鳴,聲震全地;前來併吞土地和地上的一切,吞食城邑和城中的居民。
17 “Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa, amasalambwa g’otasobola kufuga, emisota egyo girikuluma,” bwayogera Mukama.
看,我必給你們派來不伯符咒的毒蛇,咬傷你們──上主的斷語──
18 Nnina ennaku etewonyezeka, omutima gwange gwennyise.
無法療愈。我戚戚憂傷,我心已憔悴。
19 Wuliriza okukaaba kw’abantu bange okuva mu nsi ey’ewala. “Mukama taliimu mu Sayuuni? Kabaka we takyalimu?” “Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe, bakatonda abalala abatagasa?”
由遠方傳來我女兒──人民──哀號的呼聲:「上主已不在熙雍﹖或者衪君王已不在那裏嗎﹖──為什麼他們以自己的偶像和外邦的「虛無」激怒我﹖──
20 “Amakungula gayise, n’ekyeya kiyise, tetulokolebbwa.”
收割期已經過去,夏天已經完結,我們仍沒有獲救! 」
21 Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange. Nkaaba ne nzijula ennaku.
我的女兒──人民──的創傷使我心痛欲裂,鬱鬱不安,不勝感傷。
22 Teri ddagala mu Gireyaadi? Teriiyo musawo? Lwaki ekiwundu ky’abantu bange tekiwonyezebwa?
難道在基肋阿得沒有膏藥,或在那裏沒有醫生嗎﹖究竟為了什麼,我的女兒──人民──的創傷還沒有痊愈﹖