< Yeremiya 6 >
1 Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini! Mmudduke muve mu Yerusaalemi. Fuuwa ekkondeere mu Tekowa, era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu: kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono, okuzikirira okw’entiisa.
confortamini filii Beniamin in medio Hierusalem et in Thecua clangite bucina et super Bethaccharem levate vexillum quia malum visum est ab aquilone et contritio magna
2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni, omulungi oyo omubalagavu.
speciosae et delicatae adsimilavi filiam Sion
3 Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe. Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna, buli omu yeezimbire w’ayagala.
ad eam venient pastores et greges eorum fixerunt in ea tentoria in circuitu pascet unusquisque eos qui sub manu sua sunt
4 “Mwetegeke mumulwanyise! Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu! Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo, n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
sanctificate super eam bellum consurgite et ascendamus in meridie vae nobis quia declinavit dies quia longiores factae sunt umbrae vesperi
5 Tugende, tulumbe kiro tuzikirize amayumba ge.”
surgite et ascendamus in nocte et dissipemus domos eius
6 Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti, “Muteme emiti mukole entuumo muzingize Yerusaalemi. Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna, kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
quia haec dicit Dominus exercituum caedite lignum eius et fundite circa Hierusalem aggerem haec est civitas visitationis omnis calumnia in medio eius
7 Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo, entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo. Obulwadde n’ebiwundu bye ndaba buli bbanga.
sicut frigidam facit cisterna aquam suam sic frigidam fecit malitiam suam iniquitas et vastitas audietur in ea coram me semper infirmitas et plaga
8 Nkulabula, ggwe Yerusaalemi, emmeeme yange ereme okwawukana naawe, si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
erudire Hierusalem ne forte recedat anima mea a te ne forte ponam te desertam terram inhabitabilem
9 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Balisusumbulira ddala n’abo abatono abaliba basigaddewo mu Isirayiri. Ddamu oyise omukono mu matabi ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
haec dicit Dominus exercituum usque ad racemum colligent quasi in vinea reliquias Israhel converte manum tuam quasi vindemiator ad cartallum
10 Ndyogera eri ani gwe ndirabula? Ani alimpuliriza? Amatu gaabwe gagaddwa ne batasobola kuwulira. Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali, tebakisanyukira n’akamu.
cui loquar et quem contestabor ut audiant ecce incircumcisae aures eorum et audire non possunt ecce verbum Domini factum est eis in obprobrium et non suscipient illud
11 Kyenva nzijula ekiruyi sikyasobola kukizibiikiriza. “Kiyiwe ku baana abali mu luguudo, ne ku bavubuka abakuŋŋaanye; abaami awamu n’abakazi n’abakadde abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
idcirco furore Domini plenus sum laboravi sustinens effunde super parvulum foris et super concilium iuvenum simul vir enim cum muliere capietur senex cum pleno dierum
12 Enju zaabwe ziritwalibwa abalala, n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe; kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,” bw’ayogera Mukama.
et transibunt domus eorum ad alteros agri et uxores pariter quia extendam manum meam super habitantes terram dicit Dominus
13 “Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera eby’obulimba.
a minore quippe usque ad maiorem omnes avaritiae student et a propheta usque ad sacerdotem cuncti faciunt dolum
14 Ekiwundu ky’abantu bange bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi. Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’ So nga tewali mirembe.
et curabant contritionem filiae populi mei cum ignominia dicentes pax pax et non erat pax
15 Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo? Nedda. Tebakwatibwa nsonyi n’akatono. Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa; balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,” bw’ayogera Mukama.
confusi sunt quia abominationem fecerunt quin potius confusione non sunt confusi et erubescere nescierunt quam ob rem cadent inter ruentes in tempore visitationis suae corruent dicit Dominus
16 Kino Mukama ky’agamba nti, “Yimirira mu masaŋŋanzira otunule. Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo, emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo. Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
haec dicit Dominus state super vias et videte et interrogate de semitis antiquis quae sit via bona et ambulate in ea et invenietis refrigerium animabus vestris et dixerunt non ambulabimus
17 Nabateerawo abakuumi babategeeze nti, Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere, naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
et constitui super vos speculatores audite vocem tubae et dixerunt non audiemus
18 Kale muwulire, mmwe amawanga era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
ideo audite gentes et cognosce congregatio quanta ego faciam eis
19 Wuliriza, ggwe ensi: laba, ndeeta akabi ku bantu bano, by’ebibala by’enkwe zaabwe, kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange n’etteeka lyange baligaanye.
audi terra ecce ego adducam mala super populum istum fructum cogitationum eius quia verba mea non audierunt et legem meam proiecerunt
20 Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki? Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala? Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza, n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
ut quid mihi tus de Saba adfertis et calamum suave olentem de terra longinqua holocaustomata vestra non sunt accepta et victimae vestrae non placuerunt mihi
21 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano; bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko. Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
propterea haec dicit Dominus ecce ego dabo in populum istum ruinas et ruent in eis patres et filii simul vicinus et proximus et peribunt
22 Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti, “Laba, eggye lijja eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono, eggwanga ery’amaanyi liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
haec dicit Dominus ecce populus venit de terra aquilonis et gens magna consurget a finibus terrae
23 Bakutte omutego n’effumu, abakambwe abatalina kusaasira. Bawulikika ng’ennyanja ewuuma, nga beebagadde embalaasi zaabwe: bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
sagittam et scutum arripiet crudelis est et non miserebitur vox eius quasi mare sonabit et super equos ascendent praeparati quasi vir ad proelium adversum te filia Sion
24 Tuwulidde ettutumu lyabwe; era emikono gyaffe giweddemu amaanyi okulumwa okunene kutukutte n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
audivimus famam eius dissolutae sunt manus nostrae tribulatio adprehendit nos dolores ut parturientem
25 Togeza kugenda mu nnimiro newaakubadde okutambulira mu kkubo; kubanga omulabe abunye wonna wonna n’entiisa ejjudde mu bantu.
nolite exire ad agros et in via ne ambuletis quoniam gladius inimici pavor in circuitu
26 Kale nno mmwe abantu, mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu; mukungubage ng’abakaabira omwana owoobulenzi omu yekka. Kubanga oyo agenda okuzikiriza ajja kutugwako mavumbavumba.
filia populi mei accingere cilicio et conspergere cinere luctum unigeniti fac tibi planctum amarum quia repente veniet vastator super nos
27 “Nkufudde ekigezesa abantu bange n’ekyuma, osobole okulaba n’okugezesa amakubo gaabwe.
probatorem dedi te in populo meo robustum et scies et probabis viam eorum
28 Bonna bakyewaggula abakakanyavu abagenda bawaayiriza, bikomo era kyuma, bonna boonoonefu.
omnes isti principes declinantum ambulantes fraudulenter aes et ferrum universi corrupti sunt
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi, omuliro gumalawo essasi, naye balongoosereza bwereere kubanga ababi tebaggyibwamu.
defecit sufflatorium in igne consumptum est plumbum frustra conflavit conflator malitiae enim eorum non sunt consumptae
30 Baliyitibwa masengere ga ffeeza, kubanga Mukama abalese.”
argentum reprobum vocate eos quia Dominus proiecit illos