< Yeremiya 52 >
1 Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
2 Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze.
3 Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
4 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola.
5 Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.
6 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya.
7 Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba.
8 Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana.
9 N’akwatibwa. Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga.
10 Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda.
11 N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.
12 Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka w’e Babulooni, yajja e Yerusaalemi.
13 Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya.
14 Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi.
15 Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni.
16 Naye Nebuzaladaani n’asigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
17 Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya Mukama ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni.
18 Ne batwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebibya, n’ebijiiko, n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu.
19 Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.
20 Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika.
21 Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; n’obwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; n’omubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka.
22 Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga.
23 Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.
24 Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe.
25 Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga.
26 Nebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna.
27 Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi. Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.
28 Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse: mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe: Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;
29 mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza, n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi;
30 mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu, Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka. Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga.
31 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri.
32 N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni.
33 Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka.
34 Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.