< Yeremiya 51 >

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
Así dice Yahvé: “Ved que voy a suscitar un espíritu destructor contra Babel y contra los moradores de Caldea.
2 Ndituma abagwira e Babulooni bamuwewe era bazikirize ensi ye; balimulumba ku buli luuyi ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
Enviaré a Babilonia aventadores que la aventarán, y que despojen su país y lo rodeen por todas partes en el día de la desdicha.
3 Omulasi talikuba busaale bwe, taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa. Temusonyiwa batabani be; muzikiririze ddala amaggye ge.
Entese el arquero su arco contra el arquero, y contra aquel que se jacta de su coraza. No perdonéis a sus jóvenes, exterminad a todas sus huestes”,
4 Baligwa nga battiddwa e Babulooni, nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
para que caigan muertos en la tierra de los caldeos y traspasados en sus calles.
5 Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye, wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
Porque Israel y Judá no son viudas (desamparadas) de su Dios, Yahvé de los ejércitos: aunque su país está lleno de culpa contra el Santo de Israel.
6 “Mudduke Babulooni. Mudduke okuwonya obulamu bwammwe. Temusaanawo olw’ebibi bye. Kiseera kya Mukama okwesasuza; alimusasula ekyo ekimusaanira.
Huid de en medio de Babilonia, salve cada uno su vida, no sea que perezcáis por la iniquidad de ella; porque, tiempo es de la venganza de Yahvé; Él va a darle su merecido.
7 Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama; yatamiiza ensi yonna. Amawanga gaanywa wayini we, kyegavudde galaluka.
Babilonia era un cáliz de oro en la mano de Yahvé, para embriagar a toda la tierra; de su vino bebieron los pueblos de modo que enloquecieron.
8 Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka. Mukikungubagire. Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo oboolyawo anaawonyezebwa.
De repente ha caído Babilonia, y ha sido quebrantada; lamentadla, tomad bálsamo para su herida, a ver si sana.
9 “‘Twandiwonyezza Babulooni, naye tayinza kuwonyezeka. Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye, kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula, gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’
Hemos procurado curar a Babilonia, pero ella no ha sanado. Abandonadla, y vámonos cada cual a su país, pues su crimen alcanza hasta el cielo, y se alza hasta las nubes.
10 “‘Mukama atulwaniridde, mujje tukitegeeze mu Sayuuni ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’
Yahvé ha manifestado nuestra justicia; venid, y narremos en Sión la obra de Yahvé, Dios nuestro.”
11 “Muwagale obusaale, mukwate engabo! Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi, kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni. Mukama aliwalana eggwanga, aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
Aguzad las saetas, cubríos con los escudos; Yahvé ha excitado el espíritu de los reyes de los medos; porque su plan contra Babilonia es destruirla; es la venganza de Yahvé, la venganza de su Templo.
12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni! Mwongereko abakuumi, muteekeko abaserikale, mutegeke okulumba mbagirawo! Mukama alituukiriza ekigendererwa bye, ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
Alzad el estandarte contra los muros de Babilonia, aumentad la vigilancia; poned centinelas, y disponed emboscadas, porque Yahvé ejecuta lo que se ha propuesto, o que ha anunciado contra los habitantes de Babel.
13 Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi, omugagga mu bintu eby’omuwendo, enkomerero yo etuuse, ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
Tú que habitas junto a muchas aguas, rica en tesoros, ha llegado tu fin, (está llena) la medida de tus rapiñas.
14 Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe; ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige, era balireekaana nga bakuwangudde.
Yahvé de los ejércitos ha jurado por sí mismo: “Te inundaré de hombres como si fuesen langostas, y lanzarán contra ti gritos” (de victoria).
15 “Ensi yagikola n’amaanyi ge; yagiteekawo n’amagezi ge, n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
Él hizo la tierra con su poder, fundó el orbe con su sabiduría, y con su inteligencia desplegó los cielos.
16 Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma; ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba era n’aggya empewo mu mawanika ge.
A su voz se amontonan las aguas en el cielo; Él hace subir las nubes desde los extremos de la tierra, prepara los relámpagos para la lluvia, y saca de sus depósitos los vientos.
17 “Buli muntu talina magezi wadde okutegeera; Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye. Ebifaananyi bye bya bulimba; tebirina mukka.
Todo hombre es necio, sin inteligencia; avergüéncese todo artífice de sus ídolos, porque mentira son sus imágenes de fundición, y no hay aliento en ellas.
18 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
Cosas vanas son, obras de engaño; perecerán en el tiempo de su castigo.
19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano, kubanga yakola ebintu byonna, nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe, n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
La porción de Jacob no es semejante a ellas, porque Él formó todas las cosas; (Israel) es la tribu de su herencia; Yahvé de los ejércitos es su nombre.
20 “Muli mbazzi yange, ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo, mmwe be nkozesa okubetenta amawanga, mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
“Tú me serviste de martillo, de arma de guerra; por medio de ti he aplastado pueblos, por medio de ti he destruido reinos;
21 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi, ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
por medio de ti he aplastado al caballo y a su jinete, por medio de ti he aplastado el carro con el conductor;
22 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi, era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka, era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
por medio de ti he aplastado al hombre y a la mujer, por medio de ti he aplastado al viejo y al niño, por medio de ti he aplastado al joven y a la doncella;
23 Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye, ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume, ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.
por medio de ti he aplastado al pastor y su rebaño, por medio de ti he aplastado al labrador y su yunta, por medio de ti he aplastado a gobernadores y jefes.
24 “Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
Pero retribuiré ante vuestros ojos a Babel y a todos los habitantes de Caldea, todo el mal que hicieron a Sión —oráculo de Yahvé.
25 “Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza, mmwe abazikiriza ensi yonna,” bw’ayogera Mukama. “Ndikugolererako omukono gwange, nkusuule ku mayinja g’ensozi, nkufuule olusozi olutakyayaka.
Heme aquí contra ti, oh monte destructor, que has destruido toda la tierra, dice Yahvé. Yo extenderé mi mano contra ti, y te haré rodar desde lo alto de las peñas; y te convertiré en monte consumido por las llamas.
26 Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda, wadde ejjinja lyonna okukola omusingi, kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.
Y no se tomará de ti piedra angular, ni piedra fundamental, porque serás ruina perpetua, dice Yahvé.
27 “Yimusa bendera mu ggwanga! Fuuwa omulere mu mawanga! Tegeka amawanga okumulwanyisa; koowoola obwakabaka buno bumulumbe: obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi. Londa omuduumizi amulumba, weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
Alzad bandera en la tierra, tocad la trompeta entre los pueblos, convocad contra ella las naciones, llamad los reinos de Ararat, Mení y Asquenaz, nombrad contra ella un Jefe, lanzad los caballos como langostas erizadas.
28 Teekateeka amawanga okumulwanyisa; bakabaka Abameedi, bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna, n’amawanga ge bafuga.
Consagrad contra ella los pueblos, los reyes de los medos, sus gobernadores y sus jefes, y todos los países de su dominio.
29 Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi, kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka, okuzikiriza ensi ya Babulooni waleme kubaawo agibeeramu.
Tiembla la tierra y se estremece, pues se cumplen contra Babilonia los planes de Yahvé, de hacer del país de Babilonia un desierto sin habitantes.
30 Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana; basigadde mu bigo byabwe. Baweddemu amaanyi; bafuuse nga bakazi. Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro; emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
Los guerreros de Babilonia dejan ya de luchar, permanecen en los baluartes; se acabó su fuerza, han venido a ser como mujeres; han sido quemadas sus casas, están rotos sus cerrojos.
31 Matalisi omu agoberera omulala, omubaka omu n’agoberera munne, okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
Un correo corre para alcanzar a otro correo, y un mensajero a otro mensajero, para anunciar al rey de Babilonia que su ciudad ha sido tomada desde un cabo a otro;
32 entindo z’emigga baziwambye, ensenyi ziyidde omuliro, n’abaserikale batidde.”
que han sido ocupados los vados, que los cañaverales están en llamas y los guerreros llenos de consternación.
33 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro, mu kiseera w’analinnyiririrwa; ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
Porque así dice Yahvé de los ejércitos, el Dios de Israel: “La hija de Babel es como una era que se aplana (para la trilla); un poco todavía, y llega para ella el tiempo de la siega”.
34 “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye, atutabudde, tufuuse ekikompe ekyereere. Atumize ng’omusota n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma, ffe n’atusesema.
“Nabucodonosor, rey de Babilonia, me ha consumido, me ha destruido, me ha dejado como una vasija vacía; cual dragón me ha devorado; se ha llenado el vientre de mis mejores bocados, me ha echado fuera.”
35 Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,” bwe boogera abatuula mu Sayuuni. “Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,” bwayogera Yerusaalemi.
“¡Recaiga sobre Babel la violencia que he sufrido en mi carne”, dice la habitadora de Sión; “¡y mi sangre sobre los habitantes de Caldea!”, dice Jerusalén.
36 Mukama kyava ayogera nti, “Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga; Ndikaliza ennyanja ye n’ensulo ze.
Por eso, así dice Yahvé: “He aquí que Yo defenderé tu causa, y te vengaré; secaré su mar y haré que se agoten sus fuentes.
37 Babulooni kirifuuka bifunvu, mpuku ya bibe, ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa, ekifo omutali abeeramu.
Babel será un montón de ruinas, morada de chacales; objeto de pasmo y escarnio (tierra) sin habitantes.
38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento, bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
Braman a una como leones, rugen cual cachorros de león.
39 Naye nga bakyabuguumirira, ndibategekera ekijjulo, mbatamiize balyoke balekaane nga baseka, olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,” bw’ayogera Mukama.
En su fiebre les daré una bebida, los embriagaré, para que se diviertan, y duerman un sueño perpetuo, del cual no se despertarán, dice Yahvé.
40 “Ndibaserengesa ng’abaana b’endiga, battibwe, ng’endiga n’embuzi.
Los llevaré al matadero como corderos, como carneros y machos cabríos.”
41 “Sesaki nga kiriwambibwa, okujaguza kw’ensi yonna kugwewo. Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
¡Cómo ha sido tomada Sesac, conquistada la gloria de toda la tierra! ¡Cómo se ha trocado Babel en objeto de horror entre los pueblos!
42 Ennyanja eribuutikira Babulooni; amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
El mar ha inundado a Babilonia, la cubrió la muchedumbre de sus olas.
43 Ebibuga bye birisigala matongo, ensi enkalu ey’eddungu, ensi eteriimu muntu, eteyitamu muntu yenna.
Sus ciudades han venido a ser un desierto, una tierra seca y árida, tierra inhabitada por la cual no transitará hombre alguno.
44 Ndibonereza Beri mu Babulooni, mmusesemye bye yali amize. Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali. Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.
“Castigaré a Bel en Babilonia, y arrancaré de su boca lo que ha engullido; ya no concurrirán a él las naciones; pues hasta los muros de Babilonia caerán.
45 “Mukiveemu, abantu bange! Mudduke muwonye obulamu bwammwe! Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
Salid de ella, oh pueblo mío, y salve cada cual su vida del furor de la ira de Yahvé.
46 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi; olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja, eŋŋambo z’entalo mu ggwanga, era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
No se amedrente vuestro corazón, ni temáis los rumores que se oirán en la tierra. Un año correrá un rumor, y después, otro año, otro rumor; la violencia dominará en el país, un tirano seguirá a otro.
47 Kubanga ekiseera kijja lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono; ensi eyo yonna eritabanguka, n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
Por lo tanto, he aquí que vienen días en que castigaré los ídolos de Babel; toda su tierra quedará cubierta de vergüenza, y todos sus muertos yacerán en medio de ella.
48 Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu birireekana olw’essanyu olwa Babulooni, abalimuzikiriza balimulumba okuva mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama.
Celebrarán lo sucedido a Babilonia los cielos y la tierra y cuanto hay en ellos, porque desde el norte vendrán sobre ella los devastadores —oráculo de Yahvé.
49 “Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa, nga bonna abaafa mu nsi yonna bwe baweddewo olwa Babulooni.
Babilonia caerá por los muertos de Israel, así como por Babilonia cayeron los muertos de toda la tierra.
50 Mmwe abawonye ekitala, mwanguwe okugenda! Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala, mulowooze ku Yerusaalemi.”
Los que habéis escapado a la espada, partid sin demora. Desde lejos acordaos de Yahvé, y Jerusalén ocupe vuestros corazones.
51 “Tuweddemu amaanyi kubanga tuvumiddwa era tukwatiddwa ensonyi, kubanga abagwira bayingidde mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”
«Estamos avergonzados, conocemos nuestra ignominia, la confusión cubre nuestro rostro; pues los extranjeros penetraron en los lugares sagrados de la Casa de Yahvé».
52 “Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono, era mu nsi ye yonna, abaliko ebisago balisinda.
Por esto, he aquí que vienen días, dice Yahvé, en que castigaré sus ídolos, y en todo su país se oirá el gemido de los traspasados.
53 Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi, ndimusindikira abazikiriza,” bw’ayogera Mukama.
Aunque Babilonia se levantase hasta el cielo, e hiciese inaccesible su alta fortaleza, de mi parte le vendrán sus devastadores”, dice Yahvé.
54 “Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni, eddoboozi ery’okuzikirira okunene okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
Alaridos se oyen de Babilonia, quebranto grande de la tierra de los caldeos;
55 Mukama alizikiriza Babulooni, alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene. Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi; okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
pues devasta Yahvé a Babel y ahoga su voz jactanciosa; braman sus olas como copiosas aguas, retumba el fragor de su voz.
56 Omuzikiriza alirumba Babulooni; abalwanyi be baliwambibwa, n’emitego gyabwe girimenyebwa. Kubanga Mukama Katonda asasula, alisasula mu bujjuvu.
Porque vino sobre ella, sobre Babel, el devastador; han sido apresados sus guerreros y rotos sus arcos; pues Dios de retribuciones es Yahvé; dará sin falta la paga.
57 Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi, ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi; balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,” bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
“Embriagaré a sus príncipes y a sus sabios, a sus gobernadores, a sus jefes y a sus valientes; y dormirán un sueño perpetuo, del cual no despertaran”, dice el Rey, cuyo nombre es Yahvé de los ejércitos.
58 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe; abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba, okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
Así dice Yahvé de los ejércitos: “Las anchas murallas de Babel serán totalmente destruidas, y quemadas sus altas puertas. Trabajaron los pueblos por nada, y las naciones se han cansado para el fuego.”
59 Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu.
Orden que el profeta Jeremías dio a Seraías, hijo de Nerías, hijo de Maasías, cuando este se encaminó a Babilonia, con Sedecías, rey de Judá, en el año cuarto de su reinado. Seraías era camarero mayor.
60 Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni.
Escribió Jeremías en un libro todo el mal que había de venir sobre Babilonia, todas estas palabras escritas contra Babilonia.
61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna.
Y dijo Jeremías a Seraías: “Cuando hayas llegado a Babilonia, mira que leas en voz alta todas estas palabras;
62 Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’
y dirás: ¡Oh, Yahvé! Tú has anunciado que destruirás este lugar, de modo que no quede en él habitante, ni hombre ni bestia, sino que sea convertido en desierto perpetuo.
63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati.
Y después de leer este libro, atarás a él una piedra y lo arrojarás en medio del Éufrates;
64 Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’” Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.
y dirás: «Así se sumergirá Babilonia, y no se recobrará del mal que voy a traer sobre ella. Así quedarán destruidos».” Hasta aquí las palabras de Jeremías.

< Yeremiya 51 >