< Yeremiya 50 >

1 Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
耶和華藉先知耶利米論巴比倫和迦勒底人之地所說的話。
2 “Buulira mu mawanga era olangirire, yimusa bendera olangirire, tolekaayo kintu kyonna ogambe nti, ‘Babulooni eriwambibwa; Beri kiswale, ne Meroddaaki kijjule entiisa. Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala era bitye.’
你們要在萬國中傳揚報告, 豎立大旗; 要報告,不可隱瞞,說: 巴比倫被攻取, 彼勒蒙羞, 米羅達驚惶。 巴比倫的神像都蒙羞; 她的偶像都驚惶。
3 Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba lyonoone ensi y’Abakaludaaya. Tewali muntu alisigalamu; abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
「因有一國從北方上來攻擊她,使她的地荒涼,無人居住,連人帶牲畜都逃走了。」
4 “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama, “abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
耶和華說:「當那日子、那時候,以色列人要和猶大人同來,隨走隨哭,尋求耶和華-他們的上帝。
5 Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti, Mujje twesibe ku Mukama Katonda mu ndagaano ey’emirembe gyonna etegenda kwerabirwa.
他們必訪問錫安,又面向這裏,說:『來吧,你們要與耶和華聯合為永遠不忘的約。』
6 “Abantu bange babadde ndiga ezibuze; abasumba baabwe babawabizza ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi. Baava ku lusozi ne badda ku kasozi ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
「我的百姓作了迷失的羊,牧人使他們走差路,使他們轉到山上。他們從大山走到小山,竟忘了安歇之處。
7 Buli eyabasanganga nga abatulugunya; abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza, kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala, ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
凡遇見他們的,就把他們吞滅。敵人說:『我們沒有罪;因他們得罪那作公義居所的耶和華,就是他們列祖所仰望的耶和華。』
8 “Mudduke okuva e Babulooni; muleke ensi y’Abakaludaaya, mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
「我民哪,你們要從巴比倫中逃走,從迦勒底人之地出去,要像羊群前面走的公山羊。
9 Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni. Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe, bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono. Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu, abataddira awo ngalo nsa.
因我必激動聯合的大國從北方上來攻擊巴比倫,他們要擺陣攻擊她;她必從那裏被攻取。他們的箭好像善射之勇士的箭,一枝也不徒然返回。
10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa; abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
迦勒底必成為掠物;凡擄掠她的都必心滿意足。這是耶和華說的。」
11 “Kubanga musanyuka ne mujaguza, mmwe abaanyaga omugabo gwabwe, kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke, ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
搶奪我產業的啊, 你們因歡喜快樂, 且像踹穀撒歡的母牛犢, 又像發嘶聲的壯馬。
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi; oyo eyakuzaala aliswazibwa. Aliba ensi esemberayo ddala, ensiko, ensi enkalu, eddungu.
你們的母巴比倫就極其抱愧, 生你們的必然蒙羞。 她要列在諸國之末, 成為曠野、旱地、沙漠。
13 Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu, naye alisigala matongo. Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze olw’ebiwundu bye byonna.
因耶和華的忿怒,必無人居住, 要全然荒涼。 凡經過巴比倫的要受驚駭, 又因她所遭的災殃嗤笑。
14 “Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni, mwenna abanaanuula omutego. Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu, kubanga yajeemera Mukama Katonda.
所有拉弓的,你們要在巴比倫的四圍擺陣, 射箭攻擊她。 不要愛惜箭枝, 因她得罪了耶和華。
15 Mumukube olube ku buli ludda. Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa, n’ebisenge bye bimenyeddwa. Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda, mumwesasuzeeko; mumukole nga bw’akoze abalala.
你們要在她四圍吶喊; 她已經投降。 外郭坍塌了, 城牆拆毀了, 因為這是耶和華報仇的事。 你們要向巴比倫報仇; 她怎樣待人,也要怎樣待她。
16 Asiga mumuggye mu Babulooni, n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula. Olw’ekitala ky’omujoozi, leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe, buli muntu adde eri abantu be.
你們要將巴比倫撒種的 和收割時拿鐮刀的都剪除了。 他們各人因怕欺壓的刀劍, 必歸回本族,逃到本土。
17 “Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye, empologoma kye zigobye. Eyasooka okumulya yali kabaka wa Bwasuli; eyasembayo okumenya amagumba ge yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
「以色列是打散的羊,是被獅子趕出的。首先是亞述王將他吞滅,末後是巴比倫王尼布甲尼撒將他的骨頭折斷。」
18 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
所以萬軍之耶和華-以色列的上帝如此說:「我必罰巴比倫王和他的地,像我從前罰亞述王一樣。
19 Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye era aliriira ku Kalumeeri ne Basani; alikuttira ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
我必再領以色列回他的草場,他必在迦密和巴珊吃草,又在以法蓮山上和基列境內得以飽足。」
20 Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
耶和華說:「當那日子、那時候,雖尋以色列的罪孽,一無所有;雖尋猶大的罪惡,也無所見;因為我所留下的人,我必赦免。」
21 “Mulumbe ensi ye Merasayimu n’abo abali mu Pekodi. Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Mukole byonna bye mbalagidde.
耶和華說:上去攻擊米拉大翁之地, 又攻擊比割的居民。 要追殺滅盡, 照我一切所吩咐你的去行。
22 Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga, eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
境內有打仗和大毀滅的響聲。
23 Ennyondo y’ensi yonna ng’ekubiddwa n’emenyeka! Babulooni kifuuse matongo mu mawanga!
全地的大錘何竟砍斷破壞? 巴比倫在列國中何竟荒涼?
24 Nakutegera omutego, ggwe Babulooni, babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde, baakukwata ne bakuwamba kubanga wawakanya Mukama.
巴比倫哪,我為你設下網羅, 你不知不覺被纏住。 你被尋着,也被捉住; 因為你與耶和華爭競。
25 Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola mu nsi y’Abakaludaaya.
耶和華已經開了武庫, 拿出他惱恨的兵器; 因為主-萬軍之耶和華 在迦勒底人之地有當做的事。
26 Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda, mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke, mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke. Mumuzikiririze ddala; waleme kusigalawo n’omu ku bo.
你們要從極遠的邊界來攻擊她, 開她的倉廩, 將她堆如高堆, 毀滅淨盡,絲毫不留。
27 Mutte ennume zaabwe zonna, muzitwale zittibwe. Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse, kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
要殺她的一切牛犢, 使他們下去遭遇殺戮。 他們有禍了, 因為追討他們的日子已經來到。 (
28 Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni nga balangirira mu Sayuuni engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza, gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
有從巴比倫之地逃避出來的人,在錫安揚聲報告耶和華-我們的上帝報仇,就是為他的殿報仇。)
29 “Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni, ne bonna abanaanuula omutego. Mumwetooloole yenna; tewaba n’omu awona. Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna; mumukole nga bwe yakola banne. Kubanga yanyooma Mukama, Omutukuvu wa Isirayiri.
「招集一切弓箭手來攻擊巴比倫。要在巴比倫四圍安營,不要容一人逃脫,照着她所做的報應她;她怎樣待人,也要怎樣待她,因為她向耶和華-以色列的聖者發了狂傲。
30 Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo; abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda.
所以她的少年人必仆倒在街上。當那日,一切兵丁必默默無聲。這是耶和華說的。」
31 “Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, “Kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
主-萬軍之耶和華說: 你這狂傲的啊,我與你反對, 因為我追討你的日子已經來到。
32 Oyo ow’amalala alyesittala agwe era teri n’omu alimuyamba kuyimuka; Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
狂傲的必絆跌仆倒,無人扶起。 我也必使火在他的城邑中着起來, 將他四圍所有的盡行燒滅。
33 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa awamu n’abantu ba Yuda; Bonna ababawambye babanywezezza, bagaanye okubata.
萬軍之耶和華如此說:「以色列人和猶大人一同受欺壓;凡擄掠他們的都緊緊抓住他們,不肯釋放。
34 Omununuzi waabwe w’amaanyi, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa, alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe; wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
他們的救贖主大有能力,萬軍之耶和華是他的名。他必伸清他們的冤,好使全地得平安,並攪擾巴比倫的居民。」
35 “Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,” bw’ayogera Mukama, “n’eri abo ababeera mu Babulooni, n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
耶和華說:「 有刀劍臨到迦勒底人和巴比倫的居民, 並她的首領與智慧人。
36 Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba! Balifuuka balisiriwala, ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe. Balijjula entiisa.
有刀劍臨到矜誇的人, 他們就成為愚昧; 有刀劍臨到她的勇士, 他們就驚惶。
37 Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali n’abagwira bonna abamubeeramu! Balifuuka banafu ng’abakazi. Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe! Birinyagibwa!
有刀劍臨到她的馬匹、車輛, 和其中雜族的人民; 他們必像婦女一樣。 有刀劍臨到她的寶物, 就被搶奪。
38 Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu! Galikalira. Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi, ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
有乾旱臨到她的眾水, 就必乾涸; 因為這是有雕刻偶像之地, 人因偶像而顛狂。
39 “Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi, era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera. Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
所以曠野的走獸和豺狼必住在那裏,鴕鳥也住在其中,永無人煙,世世代代無人居住。」
40 Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama, “bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu; tewaliba n’omu alikisigalamu.
耶和華說:「必無人住在那裏,也無人在其中寄居,要像我傾覆所多瑪、蛾摩拉,和鄰近的城邑一樣。
41 “Laba, eggye liva mu bukiikakkono; ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi, bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
看哪,有一種民從北方而來, 並有一大國和許多君王被激動,從地極來到。
42 Balina obusaale n’amafumu, bakambwe si ba kisa. Beebagadde embalaasi zaabwe ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja; bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
他們拿弓和槍, 性情殘忍,不施憐憫; 他們的聲音像海浪匉訇。 巴比倫城啊, 他們騎馬, 都擺隊伍如上戰場的人, 要攻擊你。
43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako, n’emikono gye girebedde. Entiisa emugwiridde, ng’omukazi alumwa okuzaala.
巴比倫王聽見他們的風聲, 手就發軟, 痛苦將他抓住, 疼痛彷彿產難的婦人。
44 Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani okugenda mu ddundiro eggimu, Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe. Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino? Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza? Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
「仇敵必像獅子從約旦河邊的叢林上來,攻擊堅固的居所。轉眼之間,我要使他們逃跑,離開這地。誰蒙揀選,我就派誰治理這地。誰能比我呢?誰能給我定規日期呢?有何牧人能在我面前站立得住呢?
45 Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni, ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya. Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa, alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
你們要聽耶和華攻擊巴比倫所說的謀略和他攻擊迦勒底人之地所定的旨意。仇敵定要將他們群眾微弱的拉去,定要使他們的居所荒涼。
46 Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana; okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.
因巴比倫被取的聲音,地就震動,人在列邦都聽見呼喊的聲音。」

< Yeremiya 50 >