< Yeremiya 5 >

1 “Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi, tunulatunula olabe, noonya wonna we bakuŋŋaanira, bw’onoosanga omuntu omu bw’ati omwesimbu ow’amazima, nnaasonyiwa ekibuga kino.
שוטטו בחוצות ירושלם וראו נא ודעו ובקשו ברחובותיה אם תמצאו איש אם יש עשה משפט מבקש אמונה ואסלח לה׃
2 Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’ baba balayirira bwereere.”
ואם חי יהוה יאמרו לכן לשקר ישבעו׃
3 Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima? Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta, naye ne bagaana okukangavvulwa. Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja; era bagaanyi okwenenya.
יהוה עיניך הלוא לאמונה הכיתה אתם ולא חלו כליתם מאנו קחת מוסר חזקו פניהם מסלע מאנו לשוב׃
4 Ne njogera nti, “Bano baavu abasirusiru. Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.
ואני אמרתי אך דלים הם נואלו כי לא ידעו דרך יהוה משפט אלהיהם׃
5 Kale ndigenda eri abakulembeze njogere nabo; Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama, amateeka ga Katonda waabwe.” Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo nga baakutula ebisiba.
אלכה לי אל הגדלים ואדברה אותם כי המה ידעו דרך יהוה משפט אלהיהם אך המה יחדו שברו על נתקו מוסרות׃
6 Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya, n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo. Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe, buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe; Kubanga ebibi byabwe bingi, okudda ennyuma kunene.
על כן הכם אריה מיער זאב ערבות ישדדם נמר שקד על עריהם כל היוצא מהנה יטרף כי רבו פשעיהם עצמו משבותיהם׃
7 “Mbasonyiwe ntya? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda. Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda, ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
אי לזאת אסלוח לך בניך עזבוני וישבעו בלא אלהים ואשבע אותם וינאפו ובית זונה יתגדדו׃
8 Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye, buli muntu ng’akaayanira muka munne.
סוסים מיזנים משכים היו איש אל אשת רעהו יצהלו׃
9 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo? bw’ayogera Mukama, Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi efaanana bw’etyo?”
העל אלה לוא אפקד נאם יהוה ואם בגוי אשר כזה לא תתנקם נפשי׃
10 “Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone, naye togimalirawo ddala. Giggyeeko amatabi gaagyo, kubanga si bantu ba Mukama.
עלו בשרותיה ושחתו וכלה אל תעשו הסירו נטישותיה כי לוא ליהוה המה׃
11 Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zifuukidde ddala njeemu gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
כי בגוד בגדו בי בית ישראל ובית יהודה נאם יהוה׃
12 Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti, “Talina kyajja kukola, tewali kabi kanaatugwako, era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
כחשו ביהוה ויאמרו לא הוא ולא תבוא עלינו רעה וחרב ורעב לוא נראה׃
13 Bannabbi mpewo buwewo era ekigambo tekibaliimu; noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”
והנביאים יהיו לרוח והדבר אין בהם כה יעשה להם׃
14 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga abantu boogedde ebigambo bino, ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro, n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
לכן כה אמר יהוה אלהי צבאות יען דברכם את הדבר הזה הנני נתן דברי בפיך לאש והעם הזה עצים ואכלתם׃
15 Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala, ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama. Ensi eyaguma ey’edda, abantu ab’olulimi lwe mutamanyi aboogera bye mutategeera
הנני מביא עליכם גוי ממרחק בית ישראל נאם יהוה גוי איתן הוא גוי מעולם הוא גוי לא תדע לשנו ולא תשמע מה ידבר׃
16 omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde, bonna balwanyi nnamige.
אשפתו כקבר פתוח כלם גבורים׃
17 Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe; balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe; balye emizabbibu n’emitiini gyammwe, ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.
ואכל קצירך ולחמך יאכלו בניך ובנותיך יאכל צאנך ובקרך יאכל גפנך ותאנתך ירשש ערי מבצריך אשר אתה בוטח בהנה בחרב׃
18 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo.
וגם בימים ההמה נאם יהוה לא אעשה אתכם כלה׃
19 Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
והיה כי תאמרו תחת מה עשה יהוה אלהינו לנו את כל אלה ואמרת אליהם כאשר עזבתם אותי ותעבדו אלהי נכר בארצכם כן תעבדו זרים בארץ לא לכם׃
20 “Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo, kirangirire mu Yuda.
הגידו זאת בבית יעקב והשמיעוה ביהודה לאמר׃
21 Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera, abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.
שמעו נא זאת עם סכל ואין לב עינים להם ולא יראו אזנים להם ולא ישמעו׃
22 Temuntya?” bw’ayogera Mukama; “temunkankanira? Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja, olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka; wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza, gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
האותי לא תיראו נאם יהוה אם מפני לא תחילו אשר שמתי חול גבול לים חק עולם ולא יעברנהו ויתגעשו ולא יוכלו והמו גליו ולא יעברנהו׃
23 Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu. Bajeemye banvuddeko.
ולעם הזה היה לב סורר ומורה סרו וילכו׃
24 Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba, eya ddumbi n’eya ttoggo, mu ntuuko zaayo; atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’”
ולא אמרו בלבבם נירא נא את יהוה אלהינו הנתן גשם וירה ומלקוש בעתו שבעות חקות קציר ישמר לנו׃
25 Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.
עונותיכם הטו אלה וחטאותיכם מנעו הטוב מכם׃
26 “Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange; abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi. Batega abantu omutego.
כי נמצאו בעמי רשעים ישור כשך יקושים הציבו משחית אנשים ילכדו׃
27 Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi, enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe. Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga, ne bagejja era ne banyirira.
ככלוב מלא עוף כן בתיהם מלאים מרמה על כן גדלו ויעשירו׃
28 Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya, abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango, era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
שמנו עשתו גם עברו דברי רע דין לא דנו דין יתום ויצליחו ומשפט אביונים לא שפטו׃
29 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?” bw’ayogera Mukama. “Nneme okwesasuza ku ggwanga eriri nga eryo?
העל אלה לא אפקד נאם יהוה אם בגוי אשר כזה לא תתנקם נפשי׃
30 “Ekigambo eky’ekitalo era eky’ekivve kigudde mu nsi:
שמה ושערורה נהיתה בארץ׃
31 Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba, bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala. Naye ku nkomerero munaakola mutya?”
הנביאים נבאו בשקר והכהנים ירדו על ידיהם ועמי אהבו כן ומה תעשו לאחריתה׃

< Yeremiya 5 >