< Yeremiya 49 >

1 Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Isirayiri terina baana balenzi? Terina basika? Lwaki Malukamu atutte Gaadi? Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
לבני עמון כה אמר יהוה הבנים אין לישראל אם יורש אין לו--מדוע ירש מלכם את גד ועמו בעריו ישב
2 Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo ku Labba eky’abawala ba Amoni. Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu, n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro. Isirayiri eryoke egobere ebweru abo abagigoba,” bw’ayogera Mukama Katonda.
לכן הנה ימים באים נאם יהוה והשמעתי אל רבת בני עמון תרועת מלחמה והיתה לתל שממה ובנתיה באש תצתנה וירש ישראל את ירשיו אמר יהוה
3 “Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde! Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba! Mwesibe ebibukutu mukungubage. Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga, kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona n’abakungu.
הילילי חשבון כי שדדה עי צעקנה בנות רבה--חגרנה שקים ספדנה והתשוטטנה בגדרות כי מלכם בגולה ילך כהניו ושריו יחדיו
4 Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe, ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu? Ggwe omuwala atali mwesigwa, weesiga obugagga bwo n’ogamba nti, ‘Ani alinnumba?’
מה תתהללי בעמקים--זב עמקך הבת השובבה הבטחה באצרתיה מי יבוא אלי
5 Ndikuleetako entiisa, okuva mu abo bonna abakwetoolodde,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye. “Buli omu ku mmwe aligobebwa, era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.
הנני מביא עליך פחד נאם אדני יהוה צבאות--מכל סביביך ונדחתם איש לפניו ואין מקבץ לנדד
6 “Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,” bw’ayogera Mukama Katonda.
ואחרי כן אשיב את שבות בני עמון--נאם יהוה
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Tewakyali magezi mu Temani? Abeegendereza babuliddwa okutegeera? Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
לאדום כה אמר יהוה צבאות האין עוד חכמה בתימן אבדה עצה מבנים נסרחה חכמתם
8 Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala mmwe abatuuze b’e Dedani, kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu, mu kiseera bwe ndimubonerereza.
נסו הפנו העמיקו לשבת ישבי דדן כי איד עשו הבאתי עליו עת פקדתיו
9 Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli, tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi? Singa ababbi bazze ekiro, tebandibbye byonna bye beetaaga?
אם בצרים באו לך לא ישארו עוללות אם גנבים בלילה השחיתו דים
10 Naye ndyambula Esawu mwerule; ndizuula ebifo bye mwe yeekweka, aleme kwekweka. Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira, era wa kuggwaawo.
כי אני חשפתי את עשו גליתי את מסתריו ונחבה לא יוכל שדד זרעו ואחיו ושכניו ואיננו
11 Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira. Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”
עזבה יתמיך אני אחיה ואלמנותיך עלי תבטחו
12 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa.
כי כה אמר יהוה הנה אשר אין משפטם לשתות הכוס שתו ישתו ואתה הוא נקה תנקה לא תנקה כי שתה תשתה
13 Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”
כי בי נשבעתי נאם יהוה כי לשמה לחרפה לחרב ולקללה תהיה בצרה וכל עריה תהיינה לחרבות עולם
14 Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda. Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti, “Mwekuŋŋaanye mukirumbe! Mugolokoke mukole olutalo!”
שמועה שמעתי מאת יהוה וציר בגוים שלוח התקבצו ובאו עליה וקומו למלחמה
15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, abanyoomebwa mu bantu.
כי הנה קטן נתתיך בגוים--בזוי באדם
16 Entiisa gy’oleeta n’amalala g’omutima gwo bikulimbye, mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja, mmwe ababeera waggulu mu nsozi. Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
תפלצתך השיא אתך זדון לבך שכני בחגוי הסלע תפשי מרום גבעה כי תגביה כנשר קנך משם אורידך נאם יהוה
17 “Edomu kirifuuka kyerolerwa, abo bonna abayitawo balyewuunya batye olw’ebiwundu bye byonna.
והיתה אדום לשמה כל עבר עליה ישם וישרק על כל מכותה
18 Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa, wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “tewaliba n’omu abibeeramu; tewali musajja alikituulamu.
כמהפכת סדם ועמרה ושכניה--אמר יהוה לא ישב שם איש ולא יגור בה בן אדם
19 “Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani okugenda mu muddo omugimu, ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro. Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino? Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza? Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
הנה כאריה יעלה מגאון הירדן אל נוה איתן--כי ארגיעה אריצנו מעליה ומי בחור אליה אפקד כי מי כמוני ומי יעידני ומי זה רעה אשר יעמד לפני
20 Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu, kyategekedde abo abatuula mu Temani. Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa, alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
לכן שמעו עצת יהוה אשר יעץ אל אדום ומחשבותיו אשר חשב אל ישבי תימן אם לוא יסחבום צעירי הצאן אם לא ישים עליהם נוהם
21 Bwe baligwa ensi erikankana, emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
מקול נפלם רעשה הארץ צעקה בים סוף נשמע קולה
22 Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira, n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula. Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.
הנה כנשר יעלה וידאה ויפרש כנפיו על בצרה והיה לב גבורי אדום ביום ההוא כלב אשה מצרה
23 Ebikwata ku Damasiko: “Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi, kubanga biwulidde amawulire amabi. Bakeŋŋentereddwa, batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
לדמשק בושה חמת וארפד--כי שמעה רעה שמעו נמגו בים דאגה השקט לא יוכל
24 Ddamasiko ayongobedde, akyuse adduke era okutya kumukutte; obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza, obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
רפתה דמשק הפנתה לנוס ורטט החזיקה צרה וחבלים אחזתה כיולדה
25 Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse, ekibuga mwe nsanyukira?
איך לא עזבה עיר תהלה (תהלת)--קרית משושי
26 Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo, n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
לכן יפלו בחוריה ברחבתיה וכל אנשי המלחמה ידמו ביום ההוא נאם יהוה צבאות
27 “Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro; gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”
והצתי אש בחומת דמשק ואכלה ארמנות בן הדד
28 Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Golokoka, olumbe Kedali ozikirize abantu be bugwanjuba.
לקדר ולממלכות חצור אשר הכה נבוכדראצור (נבוכדראצר) מלך בבל--כה אמר יהוה קומו עלו אל קדר ושדדו את בני קדם
29 Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa; enju zaabwe ziryetikkibwa n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe. Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti, ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’
אהליהם וצאנם יקחו יריעותיהם וכל כליהם וגמליהם ישאו להם וקראו עליהם מגור מסביב
30 “Mudduke mwekukume mangu! Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe; ategese okubalumba.
נסו נדו מאד העמיקו לשבת ישבי חצור--נאם יהוה כי יעץ עליכם נבוכדראצר מלך בבל עצה וחשב עליהם (עליכם) מחשבה
31 “Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo, eriri mu kweyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda, “eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma; abantu baalyo babeera awo bokka.
קומו עלו אל גוי שליו יושב לבטח--נאם יהוה לא דלתים ולא בריח לו בדד ישכנו
32 Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa, n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe. Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala, mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והיו גמליהם לבז והמון מקניהם לשלל וזרתים לכל רוח קצוצי פאה ומכל עבריו אביא את אידם נאם יהוה
33 “Kazoli alifuuka kifo kya bibe, ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe. Tewali alikibeeramu; tewali muntu alikituulamu.”
והיתה חצור למעון תנים שממה--עד עולם לא ישב שם איש ולא יגור בה בן אדם
34 Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.
אשר היה דבר יהוה אל ירמיהו הנביא אל עילם בראשית מלכות צדקיה מלך יהודה--לאמר
35 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
כה אמר יהוה צבאות הנני שבר את קשת עילם ראשית גבורתם
36 Era ndireeta ku Eramu empewo ennya, okuva mu bitundu ebina eby’eggulu; ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya, era tewaliba nsi n’emu abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
והבאתי אל עילם ארבע רוחות מארבע קצות השמים וזרתים לכל הרחות האלה ולא יהיה הגוי אשר לא יבוא שם נדחי עולם (עילם)
37 Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be, mu maaso gaabo abamunoonya okumutta; ndibatuusaako ekikangabwa, n’obusungu bwange obungi ennyo,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ndibawondera n’ekitala okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
והחתתי את עילם לפני איביהם ולפני מבקשי נפשם והבאתי עליהם רעה את חרון אפי--נאם יהוה ושלחתי אחריהם את החרב עד כלותי אותם
38 Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu era nzikirize kabaka we n’abakungu be,” bw’ayogera Mukama Katonda.
ושמתי כסאי בעילם והאבדתי משם מלך ושרים נאם יהוה
39 “Wabula ekiseera kijja, lwe ndiddiramu Eramu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והיה באחרית הימים אשוב (אשיב) את שבית (שבות) עילם--נאם יהוה

< Yeremiya 49 >