< Yeremiya 48 >

1 Ebikwata ku Mowaabu: Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa, Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe, ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
למואב כה אמר יהוה צבאות אלהי ישראל הוי אל נבו כי שדדה הבישה נלכדה קריתים הבישה המשגב וחתה׃
2 Mowaabu taddeyo kutenderezebwa; mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti, ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’ Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa, n’ekitala kirikugoberera.
אין עוד תהלת מואב בחשבון חשבו עליה רעה לכו ונכריתנה מגוי גם מדמן תדמי אחריך תלך חרב׃
3 Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu, okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
קול צעקה מחרונים שד ושבר גדול׃
4 Mowaabu alimenyebwa; abawere ne bakaaba.
נשברה מואב השמיעו זעקה צעוריה׃
5 Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi, nga bwe bakungubaga ku luguudo olugenda e Kolonayimu, emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
כי מעלה הלחות בבכי יעלה בכי כי במורד חורנים צרי צעקת שבר שמעו׃
6 Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe; mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
נסו מלטו נפשכם ותהיינה כערוער במדבר׃
7 Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe, nammwe mulitwalibwa ng’abaddu, ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse awamu ne bakabona be n’abakungu be.
כי יען בטחך במעשיך ובאוצרותיך גם את תלכדי ויצא כמיש בגולה כהניו ושריו יחד׃
8 Omuzikiriza alirumba buli kibuga, era tewali kibuga kiriwona. Ekiwonvu kiryonoonebwa n’olusenyu luzikirizibwe kubanga Mukama ayogedde.
ויבא שדד אל כל עיר ועיר לא תמלט ואבד העמק ונשמד המישר אשר אמר יהוה׃
9 Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende kubanga alifuuka matongo, ebibuga bye birizikirizibwa, nga tewali abibeeramu.
תנו ציץ למואב כי נצא תצא ועריה לשמה תהיינה מאין יושב בהן׃
10 “Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda. Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.
ארור עשה מלאכת יהוה רמיה וארור מנע חרבו מדם׃
11 “Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe, nga wayini gwe batasengezze, gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala, tagenzeko mu buwaŋŋanguse. Kale awooma ng’edda, n’akawoowo ke tekakyukanga.
שאנן מואב מנעוריו ושקט הוא אל שמריו ולא הורק מכלי אל כלי ובגולה לא הלך על כן עמד טעמו בו וריחו לא נמר׃
12 Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya, era balimuyiwa ebweru; balittulula ensuwa ze baase n’ebibya bye.
לכן הנה ימים באים נאם יהוה ושלחתי לו צעים וצעהו וכליו יריקו ונבליהם ינפצו׃
13 Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi, ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala bwe yeesiga Beseri.
ובש מואב מכמוש כאשר בשו בית ישראל מבית אל מבטחם׃
14 “Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi, abasajja abazira mu ntalo?’
איך תאמרו גבורים אנחנו ואנשי חיל למלחמה׃
15 Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa; abavubuka be abato bagende battibwe,” bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
שדד מואב ועריה עלה ומבחר בחוריו ירדו לטבח נאם המלך יהוה צבאות שמו׃
16 “Okugwa kwa Mowaabu kusembedde; akabi katuuse.
קרוב איד מואב לבוא ורעתו מהרה מאד׃
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde, mwenna abamanyi ettutumu lye; mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese, ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’
נדו לו כל סביביו וכל ידעי שמו אמרו איכה נשבר מטה עז מקל תפארה׃
18 “Mukke muve mu kitiibwa kyammwe mutuule ku ttaka, mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni, kubanga oyo azikiriza Mowaabu alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
רדי מכבוד ישבי בצמא ישבת בת דיבון כי שדד מואב עלה בך שחת מבצריך׃
19 Muyimirire ku luguudo mulabe, mmwe ababeera mu Aloweri. Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka, mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
אל דרך עמדי וצפי יושבת ערוער שאלי נס ונמלטה אמרי מה נהיתה׃
20 Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese. Mukaabe muleekaane! Mulangiririre mu Alunoni nti Mowaabu kizikiridde.
הביש מואב כי חתה הילילי וזעקי הגידו בארנון כי שדד מואב׃
21 Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
ומשפט בא אל ארץ המישר אל חלון ואל יהצה ועל מופעת׃
22 ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
ועל דיבון ועל נבו ועל בית דבלתים׃
23 ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
ועל קריתים ועל בית גמול ועל בית מעון׃
24 ne ku Keriyoosi ne ku Bozula ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
ועל קריות ועל בצרה ועל כל ערי ארץ מואב הרחקות והקרבות׃
25 Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n’omukono gwe gumenyese,” bw’ayogera Mukama Katonda.
נגדעה קרן מואב וזרעו נשברה נאם יהוה׃
26 “Mumutamiize; kubanga ajeemedde Mukama. Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye, era asekererwe.
השכירהו כי על יהוה הגדיל וספק מואב בקיאו והיה לשחק גם הוא׃
27 Isirayiri tewagisekereranga? Baali bamukutte mu bubbi, olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera buli lw’omwogerako?
ואם לוא השחק היה לך ישראל אם בגנבים נמצאה כי מדי דבריך בו תתנודד׃
28 Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi, mmwe ababeera mu Mowaabu. Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo ku mumwa gw’empuku.
עזבו ערים ושכנו בסלע ישבי מואב והיו כיונה תקנן בעברי פי פחת׃
29 “Tuwulidde amalala ga Mowaabu amalala ge agayitiridde n’okwemanya, okwewulira kwe era n’okweyisa kwe era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
שמענו גאון מואב גאה מאד גבהו וגאונו וגאותו ורם לבו׃
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
אני ידעתי נאם יהוה עברתו ולא כן בדיו לא כן עשו׃
31 Noolwekyo nkaabirira Mowaabu, olwa Mowaabu yenna nkaaba, nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
על כן על מואב איליל ולמואב כלה אזעק אל אנשי קיר חרש יהגה׃
32 Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba, ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna. Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja; gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri. Omuzikiriza agudde ku bibala byo ebyengedde era n’emizabbibu.
מבכי יעזר אבכה לך הגפן שבמה נטישתיך עברו ים עד ים יעזר נגעו על קיצך ועל בצירך שדד נפל׃
33 Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro ne ku bibanja bya Mowaabu. Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero; tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu. Newaakubadde nga waliyo okuleekaana, okuleekaana okwo si kwa ssanyu.
ונאספה שמחה וגיל מכרמל ומארץ מואב ויין מיקבים השבתי לא ידרך הידד הידד לא הידד׃
34 “Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi. Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya, kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
מזעקת חשבון עד אלעלה עד יהץ נתנו קולם מצער עד חרנים עגלת שלשיה כי גם מי נמרים למשמות יהיו׃
35 Ndiggyawo abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu, ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
והשבתי למואב נאם יהוה מעלה במה ומקטיר לאלהיו׃
36 “Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere; gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi. Obugagga bwe baafuna buweddewo.
על כן לבי למואב כחללים יהמה ולבי אל אנשי קיר חרש כחלילים יהמה על כן יתרת עשה אבדו׃
37 Buli mutwe mumwe na buli kirevu kisaliddwako; buli mukono gutemeddwako na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
כי כל ראש קרחה וכל זקן גרעה על כל ידים גדדת ועל מתנים שק׃
38 Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu ne mu bifo awakuŋŋaanirwa, tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga, kubanga njasizzayasizza Mowaabu ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
על כל גגות מואב וברחבתיה כלה מספד כי שברתי את מואב ככלי אין חפץ בו נאם יהוה׃
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba! Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu! Mowaabu afuuse kyakusekererwa, ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
איך חתה הילילו איך הפנה ערף מואב בוש והיה מואב לשחק ולמחתה לכל סביביו׃
40 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: “Laba! Empungu ekka, ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
כי כה אמר יהוה הנה כנשר ידאה ופרש כנפיו אל מואב׃
41 Ebibuga birikwatibwa n’ebigo biwambibwe. Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
נלכדה הקריות והמצדות נתפשה והיה לב גבורי מואב ביום ההוא כלב אשה מצרה׃
42 Mowaabu alizikirizibwa, kubanga yajeemera Mukama.
ונשמד מואב מעם כי על יהוה הגדיל׃
43 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu ba Mowaabu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
פחד ופחת ופח עליך יושב מואב נאם יהוה׃
44 “Buli alidduka entiisa aligwa mu bunnya, n’oyo aliba avudde mu bunnya alikwatibwa omutego; kubanga ndireeta ku Mowaabu omwaka gw’okubonaabona kwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
הניס מפני הפחד יפל אל הפחת והעלה מן הפחת ילכד בפח כי אביא אליה אל מואב שנת פקדתם נאם יהוה׃
45 “Mu kisiikirize kya Kesuboni, abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi, kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni, era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu, n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
בצל חשבון עמדו מכח נסים כי אש יצא מחשבון ולהבה מבין סיחון ותאכל פאת מואב וקדקד בני שאון׃
46 Zikusanze ggwe, Mowaabu. Abantu b’e Kemosi bazikiridde, batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse ne bawala bammwe mu busibe.
אוי לך מואב אבד עם כמוש כי לקחו בניך בשבי ובנתיך בשביה׃
47 “Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu mu nnaku ezijja,” bw’ayogera Mukama Katonda. Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.
ושבתי שבות מואב באחרית הימים נאם יהוה עד הנה משפט מואב׃

< Yeremiya 48 >