< Yeremiya 46 >
1 Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:
耶和华论列国的话临到先知耶利米。
2 Ebikwata ku Misiri: Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.
论到关乎埃及王法老尼哥的军队:这军队安营在幼发拉底河边的迦基米施,是巴比伦王尼布甲尼撒在犹大王约西亚的儿子约雅敬第四年所打败的。
3 “Mutegeke engabo zammwe, ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!
你们要预备大小盾牌, 往前上阵。
4 Mutegeke embalaasi muzeebagale! Muyimirire mu bifo byammwe n’esseppeewo zammwe! Muzigule amafumu, mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
你们套上车, 骑上马! 顶盔站立, 磨枪贯甲!
5 Kiki kye ndaba? Batidde, badda ennyuma, abalwanyi baabwe bawanguddwa. Badduka mu bwangu awatali kutunula mabega, era waliwo okufa ku buli luuyi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
我为何看见他们惊惶转身退后呢? 他们的勇士打败了, 急忙逃跑,并不回头; 惊吓四围都有! 这是耶和华说的。
6 “Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya. Beesittala ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.
不要容快跑的逃避; 不要容勇士逃脱; 他们在北方幼发拉底河边绊跌仆倒。
7 “Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira, ng’emigga egy’amazzi agabimba?
像尼罗河涨发, 像江河之水翻腾的是谁呢?
8 Misiri eyimuka nga Kiyira, ng’emigga egy’amazzi agabimba. Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna. Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
埃及像尼罗河涨发, 像江河的水翻腾。 他说:我要涨发遮盖遍地; 我要毁灭城邑和其中的居民。
9 Mulumbe, mmwe embalaasi! Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi! Mukumbe mmwe abalwanyi, abasajja b’e Kuusi ne Puuti abeettika engabo, abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.
马匹上去吧! 车辆急行吧! 勇士,就是手拿盾牌的古实人和弗人, 并拉弓的路德族,都出去吧!
10 Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango. Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa, okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi. Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
那日是主—万军之耶和华报仇的日子, 要向敌人报仇。 刀剑必吞吃得饱, 饮血饮足; 因为主—万军之耶和华 在北方幼发拉底河边有献祭的事。
11 “Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba, ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri. Naye mwongerera bwereere obujjanjabi; temujja kuwonyezebwa.
埃及的民哪, 可以上基列取乳香去; 你虽多服良药, 总是徒然,不得治好。
12 Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe; emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi. Omulwanyi omu alitomera omulala bombi ne bagwa.”
列国听见你的羞辱, 遍地满了你的哀声; 勇士与勇士彼此相碰, 一齐跌倒。
13 Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:
耶和华对先知耶利米所说的话,论到巴比伦王尼布甲尼撒要来攻击埃及地:
14 “Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli; kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti, ‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
你们要传扬在埃及,宣告在密夺, 报告在挪弗、答比匿说: 要站起出队,自作准备, 因为刀剑在你四围施行吞灭的事。
15 Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi? Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
你的壮士为何被冲去呢? 他们站立不住; 因为耶和华驱逐他们,
16 Balyesittala emirundi egiwera; baligwiragana. Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo eri abantu baffe era n’ensi zaffe, tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
使多人绊跌; 他们也彼此撞倒,说: 起来吧!我们再往本民本地去, 好躲避欺压的刀剑。
17 Eyo gye baliwowogganira nti, ‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi afiiriddwa omukisa gwe.’
他们在那里喊叫说: 埃及王法老不过是个声音; 他已错过所定的时候了。
18 “Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye, “Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi, nga Kulumeeri ku nnyanja.
君王—名为万军之耶和华的说: 我指着我的永生起誓: 尼布甲尼撒来的势派 必像他泊在众山之中, 像迦密在海边一样。
19 Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke, mmwe abali mu Misiri kubanga Noofu kirifuuka matongo, ekiryaawo omutali bantu.
住在埃及的民哪, 要预备掳去时所用的物件; 因为挪弗必成为荒场, 且被烧毁,无人居住。
20 “Misiri nte nduusi nnungi nnyo, naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
埃及是肥美的母牛犊; 但出于北方的毁灭来到了!来到了!
21 N’abajaasi be abapangise bagezze ng’ennyana. Nabo bajja kukyuka badduke, tebaasobole kuyimirirawo, kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira, ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
其中的雇勇好像圈里的肥牛犊, 他们转身退后, 一齐逃跑,站立不住; 因为他们遭难的日子、 追讨的时候已经临到。
22 Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka, omulabe alimulumba mu maanyi, amujjire n’embazzi, ng’abatemi b’emiti.
其中的声音好像蛇行一样。 敌人要成队而来,如砍伐树木的手拿斧子攻击他。
23 Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda, “newaakubadde nga kikutte nnyo. Bangi n’okusinga enzige, tebasobola kubalika.
耶和华说: 埃及的树林虽然不能寻察, 敌人却要砍伐, 因他们多于蝗虫,不可胜数。
24 Muwala wa Misiri aliswazibwa, aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”
埃及的民必然蒙羞, 必交在北方人的手中。
25 Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo.
万军之耶和华—以色列的 神说:“我必刑罚挪的亚扪和法老,并埃及与埃及的神,以及君王,也必刑罚法老和倚靠他的人。
26 Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
我要将他们交付寻索其命之人的手和巴比伦王尼布甲尼撒与他臣仆的手;以后埃及必再有人居住,与从前一样。这是耶和华说的。”
27 “Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri. Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala, n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo. Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera, era tewali alimutiisa.
我的仆人雅各啊,不要惧怕! 以色列啊,不要惊惶! 因我要从远方拯救你, 从被掳到之地拯救你的后裔。 雅各必回来,得享平靖安逸, 无人使他害怕。
28 Totya, ggwe Yakobo omuddu wange, kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama. “Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna gye nabasaasaanyiza, naye mmwe siribazikiririza ddala. Ndibabonereza naye mu bwenkanya; siribaleka nga temubonerezebbwa.”
我的仆人雅各啊,不要惧怕! 因我与你同在。 我要将我所赶你到的那些国灭绝净尽, 却不将你灭绝净尽, 倒要从宽惩治你, 万不能不罚你。 这是耶和华说的。