< Yeremiya 45 >

1 Kino kye kigambo nnabbi Yeremiya kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baluki amaze okuwandiika ku muzingo nti,
猶大王約西亞的兒子約雅敬第四年,尼利亞的兒子巴錄將先知耶利米口中所說的話寫在書上。耶利米說:
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri gy’oli, ggwe Baluki nti,
「巴錄啊,耶和華-以色列的上帝說:
3 Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda n’obutawummula.’”
巴錄曾說:『哀哉!耶和華將憂愁加在我的痛苦上,我因唉哼而困乏,不得安歇。』
4 Mukama yagamba nti, “Mugambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna.
你要這樣告訴他,耶和華如此說:我所建立的,我必拆毀;我所栽植的,我必拔出;在全地我都如此行。
5 Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’”
你為自己圖謀大事嗎?不要圖謀!我必使災禍臨到凡有血氣的。但你無論往哪裏去,我必使你以自己的命為掠物。這是耶和華說的。」

< Yeremiya 45 >