< Yeremiya 43 >
1 Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba,
耶肋米亞向全體人民說完上主他們的天主的一切話,即上主他們的天主派遣他來向他們轉告的這一切話以後,
2 Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’
瑪阿色雅的兒子阿匝黎雅和卡勒亞的兒子約哈南,以及一切傲慢反叛的人,就肋米亞說:「你說謊;上主我們的天主並沒有派你說:你們不要去寄居埃及;
3 Naye Baluki mutabani wa Neriya y’akusendasenda otugabule mu mukono gw’Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”
只是乃黎雅的兒子巴路克挑唆你反對我們,好將我交在加色丁人手中,或殺或擄到巴比倫去。」
4 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda.
卡勒亞的兒子約哈南和眾部隊首領以及全體人民,沒有聽從上主的勸告,住在猶大地內。
5 Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda.
卡勒亞的兒子約哈南和眾部隊首領,反而率領全體猶大遣民,即那些四到各民族間,又回來住在猶大境內的人:
6 Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya.
男子和婦女,幼童和王家閨秀,以及衛隊長乃步匝辣當給沙番的孫子,阿希甘的兒子留下的人,連同先知耶肋米亞和乃黎雅的兒子巴路克,
7 Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.
到埃及地去了;沒有聽從上主的勸告,而來到塔黑培乃斯。
8 Bwe baba bali e Tapaneese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
在塔黑培乃斯上主有話傳給耶肋米亞說:「
9 “Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba.
你用手拿一些大石頭,當著猶大人眼前,藏在塔黑培乃斯法郎王宮前石鋪地道下面,
10 Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka.
然後對他們說:萬軍的上主,以色列的天主這樣說:看,我必派人去領我的僕人巴比倫王拿步高來,在你藏的這些石頭上安置他的寶座,張設他的華蓋。
11 Alijja n’alumba Misiri, atte abo ab’okufa, awambe n’abo ab’okuwambibwa, n’ab’okuttibwa n’ekitala battibwe n’ekitala.
他必來攻打埃及地,叫那該死的死,該擄的擄,該殺的殺;
12 Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.
必來放火焚燒埃及的神廟,燒毀或擄走廟內的神像;必來收取埃及地,如同牧人收取自己的外衣;最後安然離去。
13 Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo ly’enjuba mu Misiri, n’ayokya n’amasabo ga bakatonda b’e Misiri.’”
此外他還要粉碎埃及地太陽神廟的石柱,放火焚燒埃及的神廟。」