< Yeremiya 40 >

1 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe.
隊長乃步匝辣當從辣瑪釋放耶肋米亞以後,上主又有話傳給先知─俘虜中──
2 Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino.
衛隊長提出耶肋米亞後,便對他說:「雅威你的天主對這地方,曾預言過這番災禍,
3 Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera.
如今果然來了;雅威照他所說的做了;因為你們犯罪相反雅威,沒有聽他的聲音,所以為你們纔發生了這樣的事。
4 Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.”
現在,你看,今天我給你除去手上的鎖鏈;你若看著同我一起到巴比倫去好,就去,我必另眼看待你;你若看著同我一起到巴比倫去不好,沒有關係;你看,整個大地擺在你面前,你看著那裏好,去那裏相宜,就到那裏去罷。
5 Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.
你若願住下,可回到巴比倫王委任管理猶大城鎮的沙番的孫子,阿希甘的兒子革達里雅那裏去,與他一同住在民間;或是到看著相宜去的任何地方去。」衛隊長便給了他乾糧和禮物,打發他走了。
6 Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.
耶肋米亞來到米茲帕阿希甘的兒子革達里雅那裏,與他一同住在當地的遺民間。
7 Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni.
在鄉間殘存的各部隊首領和他們的屬下,聽說巴比倫王委派了阿希甘的兒子革達里雅管理當地,任命他照顧當地未遷徙至巴比倫去的男女、幼童和窮人,
8 Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa.
便親自和自己的屬下來到米茲帕革達里雅那裏;前來的,有乃塔尼雅的兒子依市瑪耳,卡勒亞的兒子約哈南,堂胡默特的兒子色辣雅,乃托法人厄法依的兒子們和瑪阿加人的兒子雅匝尼雅。
9 Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi.
沙番的孫子,阿希甘的兒子革達里雅對他們和部屬起誓說:「你們不要怕奉加色丁人;住在本地,臣屬於巴比倫王,於你們必利。
10 Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, n’ebibala eby’omu kyeya, mukuŋŋaanye n’omuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.”
至於我,看,我願住在米茲帕,為對付到我們這裏來的加色丁人;你們只管儲藏酒、油和夏季的出產,安放在器皿內,住在所佔的城市裏。」
11 Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe,
散居在摩阿布,阿孟子民間,厄東地以及其他各地的一切猶太人,也聽說巴比倫王給猶大留下了遺民,派了沙番的孫子,阿希甘的兒子革達里雅管理他們,
12 bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya.
所有的猶太人就從自己飄流所至之地回來,來到猶大地類茲帕革達里雅那裏,收得了大量的酒和夏季的出產。
13 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa.
卡勒亞的兒子約哈南,和在鄉間所有部隊的首領,都到米茲帕革達里雅那裏,
14 Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.
對他說:「你是否知道:阿孟子民的君王巴里斯派遣乃塔尼雅的兒子依市瑪耳來殺害你﹖」但是阿希甘的兒子革達里雅不相信他們的話。
15 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”
卡勒亞的兒子約哈南私下在米茲帕對革達里雅提議說:「讓我去殺了乃塔尼雅的兒子依市瑪耳,沒有人會知道;為什麼要讓他來謀害你的性命,集合在你身邊的一切猶太人又遭離散,猶大遺民再遭滅亡﹖」
16 Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”
阿希甘的兒子革達里雅答覆卡勒亞的兒子約哈南說:「不要作這件事,因為你論依市瑪耳所說的,只不過是流言。」

< Yeremiya 40 >