< Yeremiya 4 >
1 “Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama, “eri nze gy’olina okudda. Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna n’otosagaasagana,
2 era singa olayira mu mazima, mu bwenkanya era mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisa era mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”
3 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti, “Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime, temusiga mu maggwa.
4 Mukoowoole Mukama, mweweeyo mutukuze emitima gyammwe mwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi, obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi, ne wataba ayinza kubuzikiza.”
5 “Kirangirire mu Yuda era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti, ‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna! Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane, tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
6 Weereza obubaka eri Sayuuni nti, Mudduke temulwa, kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono, okuzikiriza okw’amaanyi.”
7 Empologoma evudde mu kisaka kyayo, omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo. Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa bibuleko abibeeramu.
8 Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage, mukube ebiwoobe kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
9 Mukama n’agamba nti, “Ku lunaku olwo, kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo, bakabona basamaalirire ne bannabbi beewuunye.”
10 Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe Mukama Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.”
11 Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa
12 embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.”
13 Laba ajja ng’ebire, amagaali ge ng’empewo y’akazimu, embalaasi ze zidduka okusinga empungu; zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe. Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani, nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 “Labula amawanga nti ajja: kirangirirwe mu Yerusaalemi nti, ‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro kubanga Yuda yanjeemera,’” bw’ayogera Mukama.
18 “Empisa zammwe, n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino. Kino kye kibonerezo kyammwe. Nga kya bulumi! Nga kifumita omutima.”
19 Obulumi, Ayi Obulumi! Neenyoolera mu bulumi! Ayi obulumi bw’omutima gwange! Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika, kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere, mpulidde enduulu z’olutalo.
20 Okuzikirizibwa kweyongeddeko era ensi yonna eyonooneddwa. Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera, n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
21 Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?
22 “Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi. Baana abatalina magezi; abatategeera. Bakagezimunnyu mu kukola ebibi, tebamanyi kukola birungi.”
23 Natunuulira ensi, nga njereere, ate ne ntunula ne ku ggulu, ng’ekitangaala kigenze.
24 Natunuulira agasozi nga gajugumira, n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma.
25 Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu, era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse.
26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu, era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama, olw’obusungu bwe obungi.
27 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriyonoonebwa, wadde nga sirigizikiririza ddala.
28 Noolwekyo ensi erikungubaga era n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza, kubanga njogedde era maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.”
29 Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale, ebibuga byonna biribuna emiwabo, abamu beesogge ebisaka; n’abalala balinnye waggulu ku njazi. Ebibuga byonna birekeddwa ttayo; tewali abibeeramu.
30 Okola ki ggwe, ggwe eyayonoonebwa? Lwaki oyambala engoye entwakaavu, ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu, n’amaaso n’ogasiiga langi? Omala biseera nga weeyonja. Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
31 Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala, okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka, okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka, ng’agolola emikono gye ng’agamba nti, “Zinsanze nze, nzirika. Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”