< Yeremiya 38 >
1 Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti,
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’
3 Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’”
4 Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
5 Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”
6 Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.
7 Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini,
8 Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti,
9 “Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”
10 Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”
11 Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya.
12 Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo.
13 Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.
14 Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.”
15 Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”
16 Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”
17 Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu.
18 Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’”
19 Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”
20 Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa.
21 Naye bwonoogaana okwewaayo, kino Mukama kyandaze:
22 Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti, “‘Mikwano gyo gye weesiga baakubuzaabuza ne bakuwangula. Kaakano otubidde mu ttosi. Mikwano gyo gikudduseeko.’
23 “Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.”
24 Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa.
25 Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’
26 bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’”
27 Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.
28 Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi okutuusa olunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa. Yerusaalemi bwe kiti bwe kyawambibwa: