< Yeremiya 37 >

1 Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu.
וימלך מלך צדקיהו בן יאשיהו תחת כניהו בן יהויקים אשר המליך נבוכדראצר מלך בבל בארץ יהודה׃
2 Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.
ולא שמע הוא ועבדיו ועם הארץ אל דברי יהוה אשר דבר ביד ירמיהו הנביא׃
3 Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
וישלח המלך צדקיהו את יהוכל בן שלמיה ואת צפניהו בן מעשיה הכהן אל ירמיהו הנביא לאמר התפלל נא בעדנו אל יהוה אלהינו׃
4 Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera.
וירמיהו בא ויצא בתוך העם ולא נתנו אתו בית הכליא׃
5 Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.
וחיל פרעה יצא ממצרים וישמעו הכשדים הצרים על ירושלם את שמעם ויעלו מעל ירושלם׃
6 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti,
ויהי דבר יהוה אל ירמיהו הנביא לאמר׃
7 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri.
כה אמר יהוה אלהי ישראל כה תאמרו אל מלך יהודה השלח אתכם אלי לדרשני הנה חיל פרעה היצא לכם לעזרה שב לארצו מצרים׃
8 Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’
ושבו הכשדים ונלחמו על העיר הזאת ולכדה ושרפה באש׃
9 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka.
כה אמר יהוה אל תשאו נפשתיכם לאמר הלך ילכו מעלינו הכשדים כי לא ילכו׃
10 Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
כי אם הכיתם כל חיל כשדים הנלחמים אתכם ונשארו בם אנשים מדקרים איש באהלו יקומו ושרפו את העיר הזאת באש׃
11 Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo,
והיה בהעלות חיל הכשדים מעל ירושלם מפני חיל פרעה׃
12 Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo.
ויצא ירמיהו מירושלם ללכת ארץ בנימן לחלק משם בתוך העם׃
13 Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
ויהי הוא בשער בנימן ושם בעל פקדת ושמו יראייה בן שלמיה בן חנניה ויתפש את ירמיהו הנביא לאמר אל הכשדים אתה נפל׃
14 Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu.
ויאמר ירמיהו שקר אינני נפל על הכשדים ולא שמע אליו ויתפש יראייה בירמיהו ויבאהו אל השרים׃
15 Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.
ויקצפו השרים על ירמיהו והכו אתו ונתנו אותו בית האסור בית יהונתן הספר כי אתו עשו לבית הכלא׃
16 Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene.
כי בא ירמיהו אל בית הבור ואל החניות וישב שם ירמיהו ימים רבים׃
17 Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”
וישלח המלך צדקיהו ויקחהו וישאלהו המלך בביתו בסתר ויאמר היש דבר מאת יהוה ויאמר ירמיהו יש ויאמר ביד מלך בבל תנתן׃
18 Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera?
ויאמר ירמיהו אל המלך צדקיהו מה חטאתי לך ולעבדיך ולעם הזה כי נתתם אותי אל בית הכלא׃
19 Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno?
ואיו נביאיכם אשר נבאו לכם לאמר לא יבא מלך בבל עליכם ועל הארץ הזאת׃
20 Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’”
ועתה שמע נא אדני המלך תפל נא תחנתי לפניך ואל תשבני בית יהונתן הספר ולא אמות שם׃
21 Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.
ויצוה המלך צדקיהו ויפקדו את ירמיהו בחצר המטרה ונתן לו ככר לחם ליום מחוץ האפים עד תם כל הלחם מן העיר וישב ירמיהו בחצר המטרה׃

< Yeremiya 37 >