< Yeremiya 34 >

1 Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amaggye ge gonna, n’abantu bonna ab’ensi ze yali afuga bwe baali balwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebikyetoolodde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti,
הדבר אשר היה אל ירמיהו מאת יהוה ונבוכדראצר מלך בבל וכל חילו וכל ממלכות ארץ ממשלת ידו וכל העמים נלחמים על ירושלם ועל כל עריה--לאמר
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Genda eri Zeddekiya kabaka wa Yuda omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera nti, Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukyokya.
כה אמר יהוה אלהי ישראל הלך ואמרת אל צדקיהו מלך יהודה ואמרת אליו כה אמר יהוה הנני נתן את העיר הזאת ביד מלך בבל ושרפה באש
3 Tolisumattuka mukono gwe era oliwambibwa otwalibwe gy’ali. Oliraba kabaka w’e Babulooni n’amaaso go, olyogera naye nga mutunuuliraganye, era olitwalibwa e Babulooni.
ואתה לא תמלט מידו--כי תפש תתפש ובידו תנתן ועיניך את עיני מלך בבל תראינה ופיהו את פיך ידבר--ובבל תבוא
4 “‘Wabula wulira ekisuubizo kya Mukama, ggwe Zeddekiya kabaka wa Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikukwatako nti, Tolifa kitala;
אך שמע דבר יהוה צדקיהו מלך יהודה כה אמר יהוה עליך לא תמות בחרב
5 olifa mu mirembe. Ng’abantu bwe bakuma ebyoto mu nnyimbe za bakitaawo, bakabaka abasooka, bwe batyo bwe balikuwa ekitiibwa nga bakujjukira nga bakukungubagira nga bagamba nti, “Woowe mukama waffe!” Nze kennyini mpa ekisuubizo kino, bw’ayogera Mukama.’”
בשלום תמות וכמשרפות אבותיך המלכים הראשנים אשר היו לפניך כן ישרפו לך והוי אדון יספדו לך כי דבר אני דברתי נאם יהוה
6 Awo Yeremiya nnabbi bino byonna n’abibuulira Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu Yerusaalemi,
וידבר ירמיהו הנביא אל צדקיהו מלך יהודה את כל הדברים האלה בירושלם
7 nga amaggye ga kabaka w’e Babulooni bwe galwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebirala ebya Yuda, Lakisi ne Azeka, ebyali bikyanywereddewo. Bino bye bibuga byokka ebyaliko eminaala egyali gisigadde mu Yuda.
וחיל מלך בבל נלחמים על ירושלם ועל כל ערי יהודה הנותרות אל לכיש ואל עזקה כי הנה נשארו בערי יהודה ערי מבצר
8 Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano n’abantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe.
הדבר אשר היה אל ירמיהו מאת יהוה--אחרי כרת המלך צדקיהו ברית את כל העם אשר בירושלם לקרא להם דרור
9 Buli muntu yenna yali ateekwa okuta omuddu we Omwebbulaniya, abasajja n’abakazi; nga tewali n’omu alina kukuumira Muyudaaya munne mu busibe.
לשלח איש את עבדו ואיש את שפחתו העברי והעבריה--חפשים לבלתי עבד בם ביהודי אחיהו איש
10 Abakungu bonna n’abantu abaayingira mu ndagaano eno bakkiriziganya nti baali bakusumulula abaddu baabwe abasajja n’abakazi baleme kubakuumira mu buddu nate. Era ne babasumulula.
וישמעו כל השרים וכל העם אשר באו בברית לשלח איש את עבדו ואיש את שפחתו חפשים לבלתי עבד בם עוד וישמעו וישלחו
11 Naye oluvannyuma ne bakyuka ne bazzaayo abaddu be baali bawadde eddembe.
וישובו אחרי כן וישבו את העבדים ואת השפחות אשר שלחו חפשים ויכבישום (ויכבשום) לעבדים ולשפחות
12 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
ויהי דבר יהוה אל ירמיהו מאת יהוה לאמר
13 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Nakola endagaano ne bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, mu nsi ey’obuddu. Nagamba nti,
כה אמר יהוה אלהי ישראל אנכי כרתי ברית את אבותיכם ביום הוצאי אותם מארץ מצרים מבית עבדים לאמר
14 ‘Buli mwaka ogw’omusanvu buli omu ku mmwe ateekwa okuta Mwebbulaniya munne eyeetunda gy’ali. Bwakuweererezanga emyaka omukaaga, oteekwa okumuta agende.’ Naye bakitammwe tebampuliriza wadde okunfaako.
מקץ שבע שנים תשלחו איש את אחיו העברי אשר ימכר לך ועבדך שש שנים ושלחתו חפשי מעמך ולא שמעו אבותיכם אלי ולא הטו את אזנם
15 Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu b’ensi ye, era ne mukola n’endagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange.
ותשבו אתם היום ותעשו את הישר בעיני לקרא דרור איש לרעהו ותכרתו ברית לפני בבית אשר נקרא שמי עליו
16 Naye kaakano mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange; buli omu ku mmwe yeddiza abaddu abasajja n’abakazi be mwali mutadde bagende gye baali beeyagalidde. Mubawalirizza babeere abaddu bammwe nate.
ותשבו ותחללו את שמי ותשבו איש את עבדו ואיש את שפחתו אשר שלחתם חפשים לנפשם ותכבשו אתם--להיות לכם לעבדים ולשפחות
17 “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bw’ayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa n’ekitala, ne kawumpuli n’enjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’oku nsi.
לכן כה אמר יהוה אתם לא שמעתם אלי לקרא דרור איש לאחיו ואיש לרעהו הנני קרא לכם דרור נאם יהוה אל החרב אל הדבר ואל הרעב ונתתי אתכם לזועה (לזעוה) לכל ממלכות הארץ
18 Abasajja abamenye endagaano yange ne batatuukiriza bweyamo buli mu ndagaano gye baakola mu maaso gange, nzija kubakolako ng’ennyana gye basalamu ebitundu ebibiri ne bayita wakati w’ebitundu byayo.
ונתתי את האנשים העברים את ברתי אשר לא הקימו את דברי הברית אשר כרתו לפני--העגל אשר כרתו לשנים ויעברו בין בתריו
19 Abakulembeze b’omu Yuda ne Yerusaalemi, n’abakungu b’embuga ya kabaka, ne bakabona n’abantu bonna ab’omu nsi abaatambulira wakati w’ebitundu by’ennyana,
שרי יהודה ושרי ירושלם הסרסים והכהנים וכל עם הארץ--העברים בין בתרי העגל
20 ndibawaayo eri abalabe baabwe abanoonya obulamu bwabwe. Emirambo gyabwe gya kufuuka mmere eri ebinyonyi eby’omu bbanga era n’eri ensolo ez’omu nsiko.
ונתתי אותם ביד איביהם וביד מבקשי נפשם והיתה נבלתם למאכל לעוף השמים ולבהמת הארץ
21 “Ndiwaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abakungu be bonna eri abalabe baabwe ababanoonya okubatta, n’eri eggye lya kabaka w’e Babulooni, eribadde lizzeeyo emabega.
ואת צדקיהו מלך יהודה ואת שריו אתן ביד איביהם וביד מבקשי נפשם וביד חיל מלך בבל העלים מעליכם
22 Ŋŋenda kuwa ekiragiro, bw’ayogera Mukama, era ndibakomyawo mu kibuga kino. Balikirwanyisa bakitwale, bakyokye. Era ndizikiriza ebibuga bya Yuda waleme kubaawo abibeeramu.”
הנני מצוה נאם יהוה והשבתים אל העיר הזאת ונלחמו עליה ולכדוה ושרפה באש ואת ערי יהודה אתן שממה מאין ישב

< Yeremiya 34 >