< Yeremiya 33 >

1 Yeremiya bwe yali ng’akyali mu kkomera mu luggya lw’omukuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti,
Or la parole de l'Éternel fut adressée à Jérémie une seconde fois, en ces mots, quand il était encore enfermé dans la cour de la prison:
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ensi, Mukama eyagikola era n’agiteekawo, Mukama lye linnya lye:
Ainsi a dit l'Éternel qui va faire ceci, l'Éternel qui le conçoit pour l'exécuter, celui dont le nom est l'Éternel:
3 ‘Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’
Crie vers moi, et je te répondrai, et je te déclarerai des choses grandes et cachées que tu ne connais pas.
4 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri z’obwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ng’entuumo eziziyiza obulumbaganyi n’ekitala
Car ainsi a dit l'Éternel, le Dieu d'Israël, touchant les maisons de cette ville et les maisons des rois de Juda, qui seront renversées par les terrasses et par l'épée,
5 mu lutalo n’Abakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gy’abasajja be nditta olw’obusungu bwange n’ekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna.
Quand on ira combattre les Caldéens et qu'elles seront remplies des cadavres des hommes que je frapperai dans ma colère et dans ma fureur, et à cause de toute la méchanceté desquels je cacherai ma face à cette ville:
6 “‘Naye ndikiwa obulamu n’okuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu.
Voici, je leur donnerai la guérison et la santé; je les guérirai, je leur découvrirai une abondance de paix et de vérité;
7 Ndikomyawo Yuda ne Isirayiri okubaggya mu buwambe era mbazimbe nga bwe baasooka okubeera.
Je ramènerai les captifs de Juda et les captifs d'Israël; et je les rétablirai comme auparavant.
8 Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe n’ekibi eky’okunjeemera.
Et je les nettoierai de toute iniquité qu'ils ont commise contre moi; je pardonnerai toutes les iniquités par lesquelles ils ont péché et se sont révoltés contre moi.
9 Olwo ekibuga kino kirindetera okwongera okumanyika, n’essanyu, n’ettendo era n’ekitiibwa eri amawanga gonna ku nsi agaliwulira ebintu byonna ebirungi bye mbakolera; era balyewuunya bakankane olw’okukulaakulana n’emirembe gye nkiwa.’
Et ce sera pour moi un renom plein de joie, de louange et de gloire, auprès de toutes les nations de la terre, qui apprendront tout le bien que je vais leur faire, et seront effrayées et épouvantées de toute la prospérité et de tout le bonheur que je vais leur donner.
10 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate
Ainsi a dit l'Éternel: Dans ce lieu duquel vous dites: Il est désert, il n'y a ni hommes, ni bêtes; dans les villes de Juda et dans les rues de Jérusalem, qui sont désolées, privées d'hommes, d'habitants et de bêtes,
11 amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti, “‘“Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye, kubanga Mukama mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.
On entendra encore la voix de joie et la voix d'allégresse, la voix de l'époux et la voix de l'épouse, la voix de ceux qui diront: “Célébrez l'Éternel des armées, car l'Éternel est bon, car sa miséricorde demeure à toujours! “et qui apporteront des sacrifices d'actions de grâces à la maison de l'Éternel. Car je ramènerai les captifs du pays, et je les rétablirai comme auparavant, a dit l'Éternel.
12 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, ‘Mu kifo kino ekirekeddwa awo omutali bantu wadde ensolo, mu bibuga byakyo byonna nate muliddamu amalundiro ag’abasumba mwe banaawummulizanga ebisibo byabwe.
Ainsi a dit l'Éternel des armées: Dans ce lieu qui est désert, sans homme ni bête, et dans toutes ses villes, il y aura des demeures pour les bergers, qui y feront reposer leurs troupeaux.
13 Mu bibuga eby’ensi ey’obusozi, eby’eri wansi w’ensozi ez’omu bugwanjuba era ne Negebu, mu kitundu kya Benyamini, mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi n’ebibuga ebyetoolodde Yuda mwonna ebisibo biriddamu okuyita wansi w’omukono gw’oyo abibala,’ bw’ayogera Mukama.
Dans les villes de la montagne, dans les villes de la plaine, dans les villes du midi, dans le pays de Benjamin, aux environs de Jérusalem et dans les villes de Juda, les troupeaux passeront encore sous les mains de celui qui les compte, a dit l'Éternel.
14 “‘Ennaku zijja,’ bw’ayogera Mukama, ‘lwe ndituukiriza ekisuubizo eky’ekisa kye nakolera ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda.
Voici, les jours viennent, dit l'Éternel, où j'accomplirai la bonne parole que j'ai prononcée sur la maison d'Israël et sur la maison de Juda.
15 “‘Mu nnaku ezo era mu kiseera ekyo ndireeta Ettabi ettukuvu mu lunyiriri lwa Dawudi era alikola eby’amazima era ebituufu mu nsi.
En ces jours et en ce temps-là, je ferai germer à David un germe de justice, qui fera droit et justice dans le pays.
16 Mu nnaku ezo Yuda alirokolebwa ne Yerusaalemi alibeera mirembe. Lino lye linnya ly’aliyitibwa nti, Mukama Obutuukirivu bwaffe.’”
En ces jours-là Juda sera sauvé, et Jérusalem habitera en assurance, et voici comment on l'appellera: L'Éternel notre justice.
17 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Dawudi talirema kubeera na muntu kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bw’ennyumba ya Isirayiri,
Car voici, a dit l'Éternel: David ne manquera jamais d'un homme assis sur le trône de la maison d'Israël;
18 wadde bakabona, n’Abaleevi, okulemwa okubeera n’omusajja ow’okuyimirira mu maaso gange ebbanga lyonna okuwaayo ssaddaaka ezokebwa, okwokya ekiweebwayo eky’empeke era n’okuwaayo ssaddaaka.”
Et les sacrificateurs lévites ne manqueront jamais devant moi d'un homme qui présente des holocaustes, et qui fasse fumer l'oblation, et qui offre des sacrifices tous les jours.
19 Ekigambo kya Mukama kyajjira Yeremiya nti,
La parole de l'Éternel fut encore adressée à Jérémie, en ces termes:
20 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bw’oba osobola okumenya endagaano yange n’emisana era n’endagaano yange n’ekiro, ne kiba nti emisana n’ekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo,
Ainsi a dit l'Éternel: Si vous pouvez rompre mon alliance avec le jour et mon alliance avec la nuit, en sorte que le jour et la nuit ne soient plus en leur temps,
21 olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, n’endagaano yange n’Abaleevi, ne bakabona, n’abaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Alors aussi sera rompue mon alliance avec David, mon serviteur, en sorte qu'il n'ait point de fils qui règne sur son trône, ainsi que mon alliance avec les lévites, les sacrificateurs, qui font mon service.
22 Ndifuula ab’enju ya Dawudi omuddu wange n’Abaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ng’emmunyeenye ez’oku ggulu ezitabalika era abatabalika ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja ogutapimika.’”
Comme on ne peut compter l'armée des cieux, ni mesurer le sable de la mer, ainsi je multiplierai la postérité de David, mon serviteur, et les Lévites qui font mon service.
23 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
La parole de l'Éternel fut aussi adressée à Jérémie, en ces mots:
24 Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga.
N'as-tu pas vu quel langage tient ce peuple, en disant: Les deux familles que l'Éternel avait élues, il les a rejetées? Ainsi ils méprisent mon peuple, de sorte qu'à leurs yeux il ne serait plus une nation.
25 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange n’emisana n’ekiro n’amateeka ag’enkalakkalira ag’eggulu n’ensi,
Ainsi a dit l'Éternel: Si je n'ai pas fait mon alliance avec le jour et la nuit, et si je n'ai pas établi les lois des cieux et de la terre,
26 olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’”
Je rejetterai aussi la postérité de Jacob et de David, mon serviteur, pour ne plus prendre de sa postérité ceux qui domineront sur la postérité d'Abraham, d'Isaac et de Jacob. Car je ramènerai leurs captifs, et j'aurai compassion d'eux.

< Yeremiya 33 >