< Yeremiya 31 >

1 “Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
בעת ההיא נאם יהוה אהיה לאלהים לכל משפחות ישראל והמה יהיו לי לעם
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Abantu abawona ekitala baliraba ekisa mu ddungu. Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
כה אמר יהוה מצא חן במדבר עם שרידי חרב הלוך להרגיעו ישראל
3 Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti, “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
מרחוק יהוה נראה לי ואהבת עולם אהבתיך על כן משכתיך חסד
4 Ndikuzimba nate, era olizimbibwa, ggwe Omuwala Isirayiri. Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo ofulume ozine n’abo abasanyuka.
עוד אבנך ונבנית בתולת ישראל עוד תעדי תפיך ויצאת במחול משחקים
5 Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya, abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
עוד תטעי כרמים בהרי שמרון נטעו נטעים וחללו
6 Walibeerawo olunaku abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti, ‘Mujje, tugende ku Sayuuni, eri Mukama Katonda waffe.’”
כי יש יום קראו נצרים בהר אפרים קומו ונעלה ציון אל יהוה אלהינו
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.” Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti, “Ayi Mukama, lokola abantu bo, abaasigalawo ku Isirayiri.”
כי כה אמר יהוה רנו ליעקב שמחה וצהלו בראש הגוים השמיעו הללו ואמרו הושע יהוה את עמך את שארית ישראל
8 Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi. Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema, n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala, era abantu bangi balikomawo.
הנני מביא אותם מארץ צפון וקבצתים מירכתי ארץ--בם עור ופסח הרה וילדת יחדו קהל גדול ישובו הנה
9 Balikomawo nga bakaaba, balisaba nga mbakomyawo. Ndibakulembera ku mabbali g’emigga, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri, era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
בבכי יבאו ובתחנונים אובילם--אוליכם אל נחלי מים בדרך ישר לא יכשלו בה כי הייתי לישראל לאב ואפרים בכרי הוא
10 “Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga, mukyogere mu nsi ezeewala. ‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
שמעו דבר יהוה גוים והגידו באיים ממרחק ואמרו מזרה ישראל יקבצנו ושמרו כרעה עדרו
11 Kubanga Mukama aligula Yakobo era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
כי פדה יהוה את יעקב וגאלו מיד חזק ממנו
12 Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni; balisanyukira okugabula kwa Mukama: emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo, n’abaana b’endiga era n’ebisibo. Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi, era tebalyongera kulaba nnaku.
ובאו ורננו במרום ציון ונהרו אל טוב יהוה על דגן ועל תירש ועל יצהר ועל בני צאן ובקר והיתה נפשם כגן רוה ולא יוסיפו לדאבה עוד
13 Abawala balizina beesiime, n’abavubuka, n’abakadde. Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu; ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
אז תשמח בתולה במחול ובחרים וזקנים יחדו והפכתי אבלם לששון ונחמתים ושמחתים מיגונם
14 Ndikkusa bakabona ebintu ebingi, n’abantu bange mbajjuze ebintu,” bw’ayogera Mukama.
ורויתי נפש הכהנים דשן ועמי את טובי ישבעו נאם יהוה
15 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwulirwa mu Laama, nga likungubaga n’okukaaba okungi. Laakeeri akaabira abaana be era agaanye okusirisibwa, kubanga abaana be baweddewo.”
כה אמר יהוה קול ברמה נשמע נהי בכי תמרורים--רחל מבכה על בניה מאנה להנחם על בניה כי איננו
16 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba n’amaaso go galeme okujja amaziga, kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,” bw’ayogera Mukama. Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
כה אמר יהוה מנעי קולך מבכי ועיניך מדמעה כי יש שכר לפעלתך נאם יהוה ושבו מארץ אויב
17 Waliwo essuubi, bw’ayogera Mukama. Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.
ויש תקוה לאחריתך נאם יהוה ושבו בנים לגבולם
18 “Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti, ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu era kaakano nkangavvuddwa. Nziza, n’akomawo gy’oli kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
שמוע שמעתי אפרים מתנודד יסרתני ואוסר כעגל לא למד השבני ואשובה כי אתה יהוה אלהי
19 Nga mmaze okubula, neenenya, nga nzizeemu amagezi agategeera ne neekuba mu kifuba. Nakwatibwa ensonyi era ne nswala, kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
כי אחרי שובי נחמתי ואחרי הודעי ספקתי על ירך בשתי וגם נכלמתי כי נשאתי חרפת נעורי
20 Efulayimu si mwana wange omwagalwa, omwana gwe nsanyukira? Wadde nga ntera okumunenya naye nkyamujjukira. Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira; nnina ekisa kingi gy’ali,” bw’ayogera Mukama.
הבן יקיר לי אפרים אם ילד שעשעים--כי מדי דברי בו זכר אזכרנו עוד על כן המו מעי לו--רחם ארחמנו נאם יהוה
21 “Muteeke ebipande ku nguudo; muteekeeko ebipande. Mwetegereze ekkubo eddene, ekkubo mwe muyita. Komawo ggwe Omuwala Isirayiri, komawo mu bibuga byo.
הציבי לך צינים שמי לך תמרורים--שתי לבך למסלה דרך הלכתי (הלכת) שובי בתולת ישראל שבי אל עריך אלה
22 Olituusa ddi okudda eno n’eri, ggwe omuwala atali mwesigwa? Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi, omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
עד מתי תתחמקין הבת השובבה כי ברא יהוה חדשה בארץ נקבה תסובב גבר
23 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’
כה אמר יהוה צבאות אלהי ישראל עוד יאמרו את הדבר הזה בארץ יהודה ובעריו בשובי את שבותם יברכך יהוה נוה צדק הר הקדש
24 Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe.
וישבו בה יהודה וכל עריו יחדו אכרים ונסעו בעדר
25 Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”
כי הרויתי נפש עיפה וכל נפש דאבה מלאתי
26 Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.
על זאת הקיצתי ואראה ושנתי ערבה לי
27 “Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo.
הנה ימים באים נאם יהוה וזרעתי את בית ישראל ואת בית יהודה זרע אדם וזרע בהמה
28 Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama.
והיה כאשר שקדתי עליהם לנתוש ולנתוץ ולהרס--ולהאביד ולהרע כן אשקד עליהם לבנות ולנטוע נאם יהוה
29 “Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti, “‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa, n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’”
בימים ההם--לא יאמרו עוד אבות אכלו בסר ושני בנים תקהינה
30 Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
כי אם איש בעונו ימות כל האדם האכל הבסר תקהינה שניו
31 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja, lwe ndikola endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri era n’ennyumba ya Yuda.
הנה ימים באים נאם יהוה וכרתי את בית ישראל ואת בית יהודה--ברית חדשה
32 Teribeera ng’endagaano eri gye nakola ne bajjajjaabwe bwe nabakwata ku mukono okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri, kubanga baamenya endagaano yange nabo wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,” bw’ayogera Mukama.
לא כברית אשר כרתי את אבותם ביום החזיקי בידם להוציאם מארץ מצרים אשר המה הפרו את בריתי ואנכי בעלתי בם--נאם יהוה
33 “Eno y’endagaano gye nnaakola n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama. “Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, ne ngawandiika ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
כי זאת הברית אשר אכרת את בית ישראל אחרי הימים ההם נאם יהוה נתתי את תורתי בקרבם ועל לבם אכתבנה והייתי להם לאלהים והמה יהיו לי לעם
34 Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bw’ayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
ולא ילמדו עוד איש את רעהו ואיש את אחיו לאמר דעו את יהוה כי כולם ידעו אותי למקטנם ועד גדולם נאם יהוה--כי אסלח לעונם ולחטאתם לא אזכר עוד
35 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Oyo ateekawo enjuba okwaka emisana, n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma; Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
כה אמר יהוה נתן שמש לאור יומם חקת ירח וכוכבים לאור לילה רגע הים ויהמו גליו יהוה צבאות שמו
36 “Amateeka gano nga bwe gavudde mu maaso gange, n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.
אם ימשו החקים האלה מלפני--נאם יהוה גם זרע ישראל ישבתו מהיות גוי לפני--כל הימים
37 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa, olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri olw’ebyo bye bakoze,” bw’ayogera Mukama.
כה אמר יהוה אם ימדו שמים מלמעלה ויחקרו מוסדי ארץ למטה גם אני אמאס בכל זרע ישראל על כל אשר עשו--נאם יהוה
38 “Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda.
הנה ימים (באים) נאם יהוה ונבנתה העיר ליהוה ממגדל חננאל שער הפנה
39 Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa.
ויצא עוד קוה (קו) המדה נגדו על גבעת גרב ונסב געתה
40 Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”
וכל העמק הפגרים והדשן וכל השרמות (השדמות) עד נחל קדרון עד פנת שער הסוסים מזרחה--קדש ליהוה לא ינתש ולא יהרס עוד לעולם

< Yeremiya 31 >