< Yeremiya 30 >

1 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,
הדבר אשר היה אל ירמיהו מאת יהוה לאמר
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.
כה אמר יהוה אלהי ישראל לאמר כתב לך את כל הדברים אשר דברתי אליך--אל ספר
3 Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”
כי הנה ימים באים נאם יהוה ושבתי את שבות עמי ישראל ויהודה אמר יהוה והשבתים אל הארץ אשר נתתי לאבותם--וירשוה
4 Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,
ואלה הדברים אשר דבר יהוה אל ישראל--ואל יהודה
5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Emiranga egy’okutya giwulirwa, bulabe teri mirembe.
כי כה אמר יהוה קול חרדה שמענו--פחד ואין שלום
6 Mubuuze mulabe. Omusajja alumwa okuzaala? Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala, buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
שאלו נא וראו אם ילד זכר מדוע ראיתי כל גבר ידיו על חלציו כיולדה ונהפכו כל פנים לירקון
7 Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo! Tewali lulirufaanana. Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo, naye aliwona n’akiyitamu.
הוי כי גדול היום ההוא--מאין כמהו ועת צרה היא ליעקב וממנה יושע
8 “‘Olulituuka ku lunaku olwo, ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe era ne mbasaleko amasamba, ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
והיה ביום ההוא נאם יהוה צבאות אשבר עלו מעל צוארך ומוסרותיך אנתק ולא יעבדו בו עוד זרים
9 Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza.
ועבדו את יהוה אלהיהם ואת דוד מלכם אשר אקים להם
10 “‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange, toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’ bw’ayogera Mukama. ‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala, nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse. Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu, era tewali n’omu alimutiisatiisa.
ואתה אל תירא עבדי יעקב נאם יהוה ואל תחת ישראל--כי הנני מושיעך מרחוק ואת זרעך מארץ שבים ושב יעקב ושקט ושאנן ואין מחריד
11 Ndi wamu nammwe era ndibalokola, wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde, siribazikiririza ddala mmwe,’ bw’ayogera Mukama. Ndibakangavvula n’obwenkanya, siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
כי אתך אני נאם יהוה להושיעך כי אעשה כלה בכל הגוים אשר הפצותיך שם אך אתך לא אעשה כלה ויסרתיך למשפט ונקה לא אנקך
12 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka, Ebisago byo si byakuwona.
כי כה אמר יהוה אנוש לשברך--נחלה מכתך
13 Tewali n’omu wa kukuwolereza, tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
אין דן דינך למזור רפאות תעלה אין לך
14 Abakuyamba bonna bakwerabidde tebakufaako. Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze, kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo n’ebibi byo bingi ddala.
כל מאהביך שכחוך אותך לא ידרשו כי מכת אויב הכיתיך מוסר אכזרי--על רב עונך עצמו חטאתיך
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo, obulumi bwo obutaliiko ddagala? Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo nkuleeseeko ebintu bino.
מה תזעק על שברך אנוש מכאבך על רב עונך עצמו חטאתיך--עשיתי אלה לך
16 “‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa, abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse. Abo abaakunyaga balinyagibwa, abo abaakwelula balyelulwa.
לכן כל אכליך יאכלו וכל צריך כלם בשבי ילכו והיו שאסיך למשסה וכל בזזיך אתן לבז
17 Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
כי אעלה ארכה לך וממכותיך ארפאך נאם יהוה כי נדחה קראו לך--ציון היא דרש אין לה
18 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu. Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo, n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
כה אמר יהוה הנני שב שבות אהלי יעקוב ומשכנתיו ארחם ונבנתה עיר על תלה וארמון על משפטו ישב
19 Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza era n’eddoboozi ery’okujaguza, ndibaaza, era tebaliba batono, ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
ויצא מהם תודה וקול משחקים והרבתים ולא ימעטו והכבדתים ולא יצערו
20 Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda, era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba. Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
והיו בניו כקדם ועדתו לפני תכון ופקדתי על כל לחציו
21 Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo; omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo. Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange, kubanga ani oyo alyewaayo okunyiikira okubeera okumpi nange?’ bw’ayogera Mukama.
והיה אדירו ממנו ומשלו מקרבו יצא והקרבתיו ונגש אלי כי מי הוא זה ערב את לבו לגשת אלי--נאם יהוה
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange, nange n’abeeranga Katonda wammwe.’”
והייתם לי לעם ואנכי אהיה לכם לאלהים
23 Laba, omuyaga gwa Mukama gulikuntira mu kiruyi, empewo ey’amaanyi eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
הנה סערת יהוה חמה יצאה--סער מתגורר על ראש רשעים יחול
24 Obusungu bwa Mukama obubuubuuka tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza ekigendererwa ky’omutima gwe. Mu nnaku ezirijja, kino mulikitegeera.
לא ישוב חרון אף יהוה עד עשתו ועד הקימו מזמות לבו באחרית הימים תתבוננו בה

< Yeremiya 30 >