< Yeremiya 3 >

1 “Omusajja bw’agoba mukazi we, omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala, omusajja we alimukomyawo nate? Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo? Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi; naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?” bw’ayogera Mukama.
Dizem: Se um homem deixar sua mulher, e ela for embora dele, e se juntar a outro homem, por acaso ele voltará a ela? Não será tal terra contaminada por completo? Tu porém tem te prostituído com muitos amantes; mas volta-te a mim, diz o SENHOR.
2 Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi. Waliwo ekifo we bateebakira naawe? Ku mabbali g’ekkubo we watulanga n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu; n’olyoka oyonoona ensi n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
Levanta teus olhos aos lugares altos, e vê onde não tenhas te prostituído; tu te sentavas para eles nos caminhos, como árabe no deserto; e assim contaminaste a terra com tuas prostituições e com tua malícia.
3 Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa, n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya. Naye era otemya nga malaaya tokwatibwa nsonyi.
Por isso as águas foram retidas, e não houve a chuva tardia; porém tu tens a testa de uma prostituta, [e] não aceitas ter vergonha.
4 Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange okuva mu buto bwange,
Não foi agora que clamaste a mim: Meu Pai, tu és o guia de minha juventude?
5 onoonyiigira ddala emirembe gyonna, olisunguwala emirembe gyonna? Bw’otyo bw’oyogera, naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
Por acaso ele manterá [sua ira] para sempre? Ele a guardará para sempre? Eis que [isto] tu falas, porém tu tens feito tantas maldades quanto pudeste.
6 Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.
Disse-me mais o SENHOR nos dias do rei Josias: Viste o que fez a rebelde Israel? Ela foi sobre todo monte alto e debaixo de toda árvore frondosa, e ali ela se prostituiu.
7 Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba.
E eu disse depois que ele fez tudo isto: Volta para mim; mas ela não voltou. E sua traiçoeira irmã Judá viu isto;
8 Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.
E eu vi, que por todas estas causas nas quais prostituiu a infiel Israel, eu a tinha mandado embora, e dado-lhe a carta de seu divórcio; porém a traiçoeira Judá sua irmã não temeu; ao contrário; ela também foi se prostituir.
9 Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge.
E aconteceu que foi pela leviandade de sua prostituição que a terra foi contaminada, e ela adulterou com a pedra e com a madeira.
10 Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
E mesmo com tudo isto, a traiçoeira, sua irmã Judá, não se converteu a mim de todo o seu coração, mas sim falsamente, diz o SENHOR.
11 Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa.
E disse-me o SENHOR: Israel mostrou-se mais justa em sua alma, mais do que a traiçoeira Judá.
12 Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti, “‘Komawo ggwe Isirayiri, eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama. ‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama; ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
Vai, e proclama estas palavras ao norte, e diz: Volta-te, ó infiel Israel, diz o SENHOR; não farei cair minha ira sobre vós: pois sou misericordioso, diz o SENHOR; não guardarei [a ira] para sempre.
13 Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera,’” bw’ayogera Mukama.
Tão somente reconhece tua maldade, pois transgrediste contra o SENHOR teu Deus, e espalhaste teus caminhos aos estrangeiros debaixo de toda árvore frondosa, e não ouviste minha voz, diz o SENHOR.
14 “Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
Convertei-vos, filhos infiéis, diz o SENHOR, pois sou vosso marido; e eu os tomarei um de uma cidade, e dois de uma família, e vos levarei a Sião;
15 Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.
E vos darei pastores conforme meu coração, que vos apascentem de conhecimento e de inteligência.
16 Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.
E será que, quando vos multiplicardes e frutificardes na terra naqueles dias, diz o SENHOR, nunca mais dirão: Arca do pacto do SENHOR; nem virá ao pensamento, nem se lembrarão dela, nem a visitarão, nem será feita novamente.
17 Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.
Naquele tempo chamarão a Jerusalém: trono do SENHOR, e todas as nações se ajuntarão a ela no nome do SENHOR em Jerusalém; e nunca mais seguirão a teimosia de seu coração maligno.
18 Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.
Naqueles tempos os da casa de Judá andarão com a casa de Israel, e virão juntamente da terra do norte à terra que eu fiz herdar a vossos pais.
19 “Nze kennyini nalowooza “nga nayagala okubayisanga nga batabani bange, era mbawe ensi eyeegombebwa, nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna. Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’ ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
Mas eu disse: Como te porei por filhos, e te darei a terra desejável, a rica propriedade dos exércitos das nações? E disse: tu me chamarás: Meu pai, e não te desviarás de detrás de mim.
20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera, bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
Porém, tal como a esposa trai o seu companheiro, assim traístes contra mim, ó casa de Israel, diz o SENHOR.
21 Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu, nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
Uma voz se ouve sobre os lugares altos: é o pranto das súplicas dos filhos de Israel; porque perverteram seu caminho, [e] se esqueceram do SENHOR seu Deus.
22 “Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.” Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
Convertei-vos, filhos rebeldes; eu sararei vossas rebeliões. Eis-nos aqui; chegamos a ti, porque tu és o SENHOR nosso Deus.
23 Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala temuli kantu. Ddala mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
Certamente [confiar] nos morros é inútil, na multidão dos montes; certamente a salvação de Israel está no SENHOR nosso Deus.
24 Naye okuva mu buto bwaffe bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
Pois a vergonha consumiu o trabalho de nossos pais desde nossa juventude; suas ovelhas, suas vacas, seus filhos e suas filhas.
25 Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe, okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno; kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
Jazemos em nossa vergonha, e nossa humilhação nos cobre; porque pecamos contra o SENHOR nosso Deus, nós e nossos pais, desde nossa juventude até hoje; e não obedecemos a voz do SENHOR nosso Deus.

< Yeremiya 3 >