< Yeremiya 29 >

1 Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi.
先知耶利米从耶路撒冷寄信与被掳的祭司、先知,和众民,并生存的长老,就是尼布甲尼撒从耶路撒冷掳到巴比伦去的。(
2 Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi.
这在耶哥尼雅王和太后、太监,并犹大、耶路撒冷的首领,以及工匠、铁匠都离了耶路撒冷以后。)
3 Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bw’eti nti,
他借沙番的儿子以利亚萨和希勒家的儿子基玛利的手寄去。他们二人是犹大王西底家打发往巴比伦去见尼布甲尼撒王的。
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti,
信上说:“万军之耶和华—以色列的 神对一切被掳去的(就是我使他们从耶路撒冷被掳到巴比伦的人)如此说:
5 “Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu.
你们要盖造房屋,住在其中;栽种田园,吃其中所产的;
6 Muwase muzaale abaana aboobulenzi n’aboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi n’abawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera.
娶妻生儿女,为你们的儿子娶妻,使你们的女儿嫁人,生儿养女。在那里生养众多,不致减少。
7 Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.”
我所使你们被掳到的那城,你们要为那城求平安,为那城祷告耶和华;因为那城得平安,你们也随着得平安。
8 Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola.
万军之耶和华—以色列的 神如此说:不要被你们中间的先知和占卜的诱惑,也不要听信自己所做的梦;
9 Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera Mukama.
因为他们托我的名对你们说假预言,我并没有差遣他们。这是耶和华说的。
10 Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino.
“耶和华如此说:为巴比伦所定的七十年满了以后,我要眷顾你们,向你们成就我的恩言,使你们仍回此地。
11 Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama.
耶和华说:我知道我向你们所怀的意念是赐平安的意念,不是降灾祸的意念,要叫你们末后有指望。
12 “Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama.
你们要呼求我,祷告我,我就应允你们。
13 “Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
你们寻求我,若专心寻求我,就必寻见。
14 Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera Mukama.
耶和华说:我必被你们寻见,我也必使你们被掳的人归回,将你们从各国中和我所赶你们到的各处招聚了来,又将你们带回我使你们被掳掠离开的地方。这是耶和华说的。
15 Muyinza okugamba nti, “Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.”
“你们说:‘耶和华在巴比伦为我们兴起先知’;
16 Naye kino Mukama ky’agamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi n’abantu bonna abaasigala mu kibuga kino, n’abantu ab’ensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse.
所以耶和华论到坐大卫宝座的王和住在这城里的一切百姓,就是未曾与你们一同被掳的弟兄,
17 Bw’ati bwayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Ndisindika ekitala, n’enjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ng’emitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olw’obubi bwagyo.
万军之耶和华如此说:‘看哪,我必使刀剑、饥荒、瘟疫临到他们,使他们像极坏的无花果,坏得不可吃。
18 Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera.
我必用刀剑、饥荒、瘟疫追赶他们,使他们在天下万国抛来抛去,在我所赶他们到的各国中,令人咒诅、惊骇、嗤笑、羞辱。
19 Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera Mukama, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bw’ayogera Mukama.
耶和华说:这是因为他们没有听从我的话,就是我从早起来差遣我仆人众先知去说的,无奈他们不听。这是耶和华说的。
20 Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni.
所以你们一切被掳去的,就是我从耶路撒冷打发到巴比伦去的,当听耶和华的话。’”
21 Kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba.
万军之耶和华—以色列的 神论到哥赖雅的儿子亚哈,并玛西雅的儿子西底家,如此说:“他们是托我名向你们说假预言的,我必将他们交在巴比伦王尼布甲尼撒的手中;他要在你们眼前杀害他们。
22 Olw’abasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘Mukama akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka w’e Babulooni be yayokya mu muliro.’
住巴比伦一切被掳的犹大人必借这二人赌咒说:‘愿耶和华使你像巴比伦王在火中烧的西底家和亚哈一样。’
23 Kubanga bakoze eby’ekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera eby’obulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bw’ayogera Mukama.
这二人是在以色列中行了丑事,与邻舍的妻行淫,又假托我名说我未曾吩咐他们的话。知道的是我,作见证的也是我。这是耶和华说的。”
24 Semaaya Omunekeramu mugambe nti,
“论到尼希兰人示玛雅,你当说,
25 “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti,
万军之耶和华—以色列的 神如此说:你曾用自己的名寄信给耶路撒冷的众民和祭司玛西雅的儿子西番雅,并众祭司,说:
26 ‘Mukama yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya Mukama; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba.
‘耶和华已经立你西番雅为祭司,代替祭司耶何耶大,使耶和华殿中有官长,好将一切狂妄自称为先知的人用枷枷住,用锁锁住。
27 Noolwekyo lwaki tokangavudde Yeremiya ow’e Yanasosi, eyefuula nnabbi wakati mu mmwe?
现在亚拿突人耶利米向你们自称为先知,你们为何没有责备他呢?
28 Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ng’agamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’”
因为他寄信给我们在巴比伦的人说:被掳的事必长久。你们要盖造房屋,住在其中;栽种田园,吃其中所产的。’”
29 Wabula Zeffaniya kabona nasomera nnabbi Yeremiya ebbaluwa eno.
祭司西番雅就把这信念给先知耶利米听。
30 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
于是耶和华的话临到耶利米说:
31 “Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba,
“你当寄信给一切被掳的人说:‘耶和华论到尼希兰人示玛雅说:因为示玛雅向你们说预言,我并没有差遣他,他使你们倚靠谎言;
32 kino Mukama ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera Mukama.’”
所以耶和华如此说:我必刑罚尼希兰人示玛雅和他的后裔,他必无一人存留住在这民中,也不得见我所要赐与我百姓的福乐,因为他向耶和华说了叛逆的话。这是耶和华说的。’”

< Yeremiya 29 >