< Yeremiya 28 >

1 Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti,
And it came to pass the same year, in the beginning of the reign of Zedekiah king of Judah, in the fourth year, in the fifth month, [that] Hananiah the son of Azzur, the prophet, who was of Gibeon, spoke to me in the house of Jehovah, in the presence of the priests and of all the people, saying,
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.
Thus speaketh Jehovah of hosts, the God of Israel, saying, I have broken the yoke of the king of Babylon.
3 Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni.
Within two full years will I bring again into this place all the vessels of Jehovah's house, that Nebuchadnezzar king of Babylon took away from this place, and carried to Babylon;
4 Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’”
and I will bring again to this place Jeconiah the son of Jehoiakim, the king of Judah, with all the captives of Judah that went to Babylon, saith Jehovah: for I will break the yoke of the king of Babylon.
5 Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, n’agamba nti,
And the prophet Jeremiah spoke unto the prophet Hananiah in the presence of the priests, and in the presence of all the people that stood in the house of Jehovah.
6 “Amiina! Bw’atyo Mukama bw’aba akola! Mukama atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni.
And the prophet Jeremiah said, Amen, may Jehovah do so! may Jehovah perform thy words which thou hast prophesied, to bring again from Babylon, into this place, the vessels of Jehovah's house, and all them of the captivity!
7 Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ng’owuliriza n’abantu bano bonna nga bawulira.
Nevertheless, hear, I pray thee, this word which I speak in thine ears, and in the ears of all the people:
8 Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi.
The prophets that have been before me and before thee of old, prophesied also concerning many countries and concerning great kingdoms, of war, and of evil, and of pestilence.
9 Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.”
The prophet that prophesieth of peace, when the word of the prophet shall come to pass, shall be known as the prophet whom Jehovah hath really sent.
10 Awo nnabbi Kananiya n’alyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya n’akimenya,
And the prophet Hananiah took the yoke from off the prophet Jeremiah's neck, and broke it.
11 n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira.
And Hananiah spoke in the presence of all the people, saying, Thus saith Jehovah: So will I break the yoke of Nebuchadnezzar the king of Babylon within two full years from off the neck of all the nations. And the prophet Jeremiah went his way.
12 Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
And the word of Jehovah came unto Jeremiah, after that the prophet Hananiah had broken the yoke from off the neck of the prophet Jeremiah, saying,
13 “Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma.
Go and tell Hananiah, saying, Thus saith Jehovah: Thou hast broken the yokes of wood, and thou hast made in their place yokes of iron.
14 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’”
For thus saith Jehovah of hosts, the God of Israel: I have put a yoke of iron upon the neck of all these nations, that they may serve Nebuchadnezzar king of Babylon; and they shall serve him: and I have given him the beasts of the field also.
15 Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba.
And the prophet Jeremiah said unto the prophet Hananiah, Hear now, Hananiah: Jehovah hath not sent thee; and thou makest this people to trust in falsehood.
16 Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’”
Therefore thus saith Jehovah: Behold, I will cast thee from off the face of the earth: this year thou shalt die, for thou hast spoken revolt against Jehovah.
17 Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.
And the prophet Hananiah died in the same year in the seventh month.

< Yeremiya 28 >