< Yeremiya 25 >

1 Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni.
verbum quod factum est ad Hieremiam de omni populo Iudae in anno quarto Ioachim filii Iosiae regis Iuda ipse est annus primus Nabuchodonosor regis Babylonis
2 Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti,
quae locutus est Hieremias propheta ad omnem populum Iuda et ad universos habitatores Hierusalem dicens
3 Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
a tertiodecimo anno Iosiae filii Amon regis Iuda usque ad diem hanc iste est tertius et vicesimus annus factum est verbum Domini ad me et locutus sum ad vos de nocte consurgens et loquens et non audistis
4 Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo.
et misit Dominus ad vos omnes servos suos prophetas consurgens diluculo mittensque et non audistis neque inclinastis aures vestras ut audiretis
5 Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna.
cum diceret revertimini unusquisque a via sua mala et a pessimis cogitationibus vestris et habitabitis in terram quam dedit Dominus vobis et patribus vestris a saeculo et usque in saeculum
6 Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
et nolite ire post deos alienos ut serviatis eis adoretisque eos neque me ad iracundiam provocetis in operibus manuum vestrarum et non adfligam vos
7 “Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
et non audistis me dicit Dominus ut me ad iracundiam provocaretis in operibus manuum vestrarum in malum vestrum
8 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange,
propterea haec dicit Dominus exercituum pro eo quod non audistis verba mea
9 nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.
ecce ego mittam et adsumam universas cognationes aquilonis ait Dominus et ad Nabuchodonosor regem Babylonis servum meum et adducam eos super terram istam et super habitatores eius et super omnes nationes quae in circuitu illius sunt et interficiam eos et ponam eos in stuporem et in sibilum et in solitudines sempiternas
10 Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala.
perdamque ex eis vocem gaudii et vocem laetitiae vocem sponsae et vocem sponsi vocem molae et lumen lucernae
11 Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
et erit universa terra eius in solitudinem et in stuporem et servient omnes gentes istae regi Babylonis septuaginta annis
12 “Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.
cumque impleti fuerint anni septuaginta visitabo super regem Babylonis et super gentem illam dicit Dominus iniquitatem eorum et super terram Chaldeorum et ponam illam in solitudines sempiternas
13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna.
et adducam super terram illam omnia verba mea quae locutus sum contra eam omne quod scriptum est in libro isto quaecumque prophetavit Hieremias adversum omnes gentes
14 Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
quia servierunt eis cum essent gentes multae et reges magni et reddam eis secundum opera eorum et secundum facta manuum suarum
15 Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa.
quia sic dicit Dominus exercituum Deus Israhel sume calicem vini furoris huius de manu mea et propinabis de illo cunctis gentibus ad quas ego mittam te
16 Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”
et bibent et turbabuntur et insanient a facie gladii quem ego mittam inter eos
17 Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;
et accepi calicem de manu Domini et propinavi cunctis gentibus ad quas misit me Dominus
18 Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
Hierusalem et civitatibus Iudae et regibus eius et principibus eius ut darem eos in solitudinem et in stuporem in sibilum et in maledictionem sicut est dies ista
19 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna,
Pharaoni regi Aegypti et servis eius et principibus eius et omni populo eius
20 n’abagwira bonna abaaliyo; bakabaka ba Uzi bonna, ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,
et universis generaliter cunctis regibus terrae Ausitidis et cunctis regibus terrae Philisthim et Ascaloni et Gazae et Accaroni et reliquiis Azoti
21 n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,
Idumeae et Moab et filiis Ammon
22 bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;
et cunctis regibus Tyri et cunctis regibus Sidonis et regibus terrae insularum qui sunt trans mare
23 Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,
et Dedan et Theman et Buz et universis qui adtonsi sunt in comam
24 ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;
et cunctis regibus Arabiae et cunctis regibus occidentis qui habitant in deserto
25 ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;
et cunctis regibus Zambri et cunctis regibus Aelam et cunctis regibus Medorum
26 n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi. Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
et cunctis regibus aquilonis de prope et de longe unicuique contra fratrem suum et omnibus regnis terrae quae super faciem eius sunt et rex Sesach bibet post eos
27 “Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’
et dices ad eos haec dicit Dominus exercituum Deus Israhel bibite et inebriamini et vomite et cadite neque surgatis a facie gladii quem ego mittam inter vos
28 Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa!
cumque noluerint accipere calicem de manu ut bibant dices ad eos haec dicit Dominus exercituum bibentes bibetis
29 Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’
quia ecce in civitate in qua invocatum est nomen meum ego incipio adfligere et vos quasi innocentes inmunes eritis non eritis inmunes gladium enim ego voco super omnes habitatores terrae dicit Dominus exercituum
30 “Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti, “‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu, era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi. Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu, ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
et tu prophetabis ad eos omnia verba haec et dices ad illos Dominus de excelso rugiet et de habitaculo sancto suo dabit vocem suam rugiens rugiet super decorem suum celeuma quasi calcantium concinetur adversus omnes habitatores terrae
31 Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma. Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana, alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’” bw’ayogera Mukama.
pervenit sonitus usque ad extrema terrae quia iudicium Domino cum gentibus iudicatur ipse cum omni carne impios tradidit gladio dicit Dominus
32 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi; enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
haec dicit Dominus exercituum ecce adflictio egredietur de gente in gentem et turbo magnus egredietur a summitatibus terrae
33 Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
et erunt interfecti Domini in die illa a summo terrae usque ad summum eius non plangentur et non colligentur neque sepelientur in sterquilinium super faciem terrae iacebunt
34 Mukaabe mulaajane mmwe abasumba, mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo. Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
ululate pastores et clamate et aspergite vos cinere optimates gregis quia conpleti sunt dies vestri ut interficiamini et dissipationes vestrae et cadetis quasi vasa pretiosa
35 Abasumba tebaabeeko na buddukiro, n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
et peribit fuga a pastoribus et salvatio ab optimatibus gregis
36 Muwulire okukaaba kw’abasumba, okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo, kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
vox clamoris pastorum et ululatus optimatium gregis quia vastavit Dominus pascuam eorum
37 Amalundiro amalungi galifuuka matongo olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
et conticuerunt arva pacis a facie irae furoris Domini
38 Ajja kuleka ekisulo kye ng’empologoma bw’eva w’esula, n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.
dereliquit quasi leo umbraculum suum facta est terra eorum in desolationem a facie irae columbae et a facie irae furoris Domini

< Yeremiya 25 >