< Yeremiya 23 >

1 “Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama.
Væ pastoribus, qui disperdunt et dilacerant gregem pascuæ meæ, dicit Dominus.
2 Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama.
Ideo hæc dicit Dominus Deus Israel ad pastores, qui pascunt populum meum: Vos dispersistis gregem meum, et eiecistis eos, et non visitastis eos: ecce ego visitabo super vos malitiam studiorum vestrorum, ait Dominus.
3 “Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi.
Et ego congregabo reliquias gregis mei de omnibus terris, ad quas eiecero eos illuc: et convertam eos ad rura sua: et crescent et multiplicabuntur.
4 Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.
Et suscitabo super eos pastores, et pascent eos: non formidabunt ultra, et non pavebunt: et nullus quæretur ex numero, dicit Dominus.
5 “Ennaku zijja, lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu, Kabaka alikulembera n’amagezi akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
Ecce dies veniunt, dicit Dominus: et suscitabo David germen iustum: et regnabit rex, et sapiens erit: et faciet iudicium et iustitiam in terra.
6 Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa ne Isirayiri alibeera mu mirembe. Lino lye linnya lye balimuyita: Mukama Obutukuvu Bwaffe.
In diebus illis salvabitur Iuda, et Israel habitabit confidenter: et hoc est nomen, quod vocabunt eum, Dominus iustus noster.
7 “Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama,
Propter hoc ecce dies veniunt, dicit Dominus, et non dicent ultra: Vivit Domnus, qui eduxit filios Israel de Terra Ægypti:
8 naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.
Sed: Vivit Dominus, qui eduxit et adduxit semen domus Israel de Terra Aquilonis, et de cunctis terris, ad quas eieceram eos illuc: et habitabunt in terra sua.
9 Ebikwata ku bannabbi: omutima gwange gwennyise mu nda yange amagumba gange gonna gakankana, nninga omusajja omutamiivu, ng’omusajja afugiddwa omwenge, ku lwa Mukama n’ebigambo bye ebitukuvu.
Ad prophetas: Contritum est cor meum in medio mei, contremuerunt omnia ossa mea: factus sum quasi vir ebrius, et quasi homo madidus a vino a facie Domini, et a facie verborum sanctorum eius.
10 Ensi ejjudde abenzi; olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu era n’amalundiro g’omu ddungu meereere. Bannabbi bagoberera amakubo amabi era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.
Quia adulteris repleta est terra, quia a facie maledictionis luxit terra, arefacta sunt arva deserti: factus est cursus eorum malus, et fortitudo eorum dissimilis.
11 “Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda, ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,” bw’ayogera Mukama.
Propheta namque et sacerdos polluti sunt: et in domo mea inveni malum eorum, ait Dominus.
12 “Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera era bajja kusuulibwa mu kizikiza era eyo gye baligwira. Ndibaleetako okuzikirira mu mwaka gwe balibonerezebwamu,” bw’ayogera Mukama.
Idcirco via eorum erit quasi lubricum in tenebris: impellentur enim, et corruent in ea: afferam enim super eos mala, annum visitationis eorum, ait Dominus.
13 “Mu bannabbi b’e Samaliya nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa. Balagulira wansi wa Baali ne babuza abantu bange Isirayiri.
Et in prophetis Samariæ vidi fatuitatem: prophetabunt in Baal, et decipiebant populum meum Israel.
14 Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi ndabye ekintu ekibi ennyo. Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba. Bagumya abo abakozi b’ebibi ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe. Bonna bali nga Sodomu gye ndi; abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
Et in prophetis Ierusalem vidi similitudinem adulterantium, et iter mendacii: et confortaverunt manus pessimorum ut non converteretur unusquisque a malitia sua: facti sunt mihi omnes ut Sodoma, et habitatores eius quasi Gomorrha.
15 Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti, “Nzija kubaliisa emmere ekaawa banywe amazzi ag’obutwa, kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi, obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
Propterea hæc dicit Dominus exercituum ad prophetas: Ecce ego cibabo eos absinthio, et potabo eos felle: a prophetis enim Ierusalem egressa est pollutio super omnem terram.
16 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, “Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza: babajjuza essuubi ekyamu. Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe, so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
Hæc dicit Dominus exercituum: Nolite audire verba prophetarum, qui prophetant vobis, et decipiunt vos: visionem cordis sui loquuntur, non de ore Domini.
17 Bagamba abo abannyooma nti, ‘Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’ Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
Dicunt his, qui blasphemant me: Locutus est Dominus: Pax erit vobis, et omni, qui ambulat in pravitate cordis sui, dixerunt: Non veniet super vos malum.
18 Naye ani ku bo eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba oba okuwulira ekigambo kye?
Quis enim affuit in consilio Domini, et vidit et audivit sermonem eius? quis consideravit verbum illius et audivit?
19 Laba, omuyaga gwa Mukama gujja kubwatuka n’ekiruyi, empewo ey’akazimu eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
Ecce turbo Dominicæ indignationis egredietur, et tempestas erumpens: super caput impiorum veniet.
20 Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma okutuusa ng’amaze okutuukiriza ekigendererwa ky’omutima gwe. Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.
Non revertetur furor Domini usque dum faciat, et usque dum compleat cogitationem cordis sui: in novissimis diebus intelligetis consilium eius.
21 Situmanga bannabbi bano, songa bagenda badduka n’obubaka buno, era sogeranga nabo, songa bategeeza obunnabbi.
Non mittebam prophetas, et ipsi currebant: non loquebar ad eos, et ipsi prophetabant.
22 Naye singa bayimirira mu maaso gange, bandibuulidde abantu bange ebigambo byange, era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi era ne mu bikolwa byabwe ebibi.
Si stetissent in consilio meo, et nota fecissent verba mea populo meo, avertissem utique eos a via sua mala, et a cogitationibus suis pessimis.
23 “Ndi Katonda abeera okumpi wokka, so si abeera ewala?” bw’ayogera Mukama.
Putasne Deus e vicino ego sum, dicit Dominus? et non Deus de longe?
24 “Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama ne sisobola kumulaba?” bw’ayogera Mukama. “Sijjuza eggulu n’ensi?” bw’ayogera Mukama.
Si occultabitur vir in absconditis: et ego non videbo eum, dicit Dominus? numquid non cælum et terram ego impleo, dicit Dominus?
25 “Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’
Audivi quæ dixerunt prophetæ, prophetantes in nomine meo mendacium, atque dicentes: Somniavi, somniavi.
26 Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe?
Usquequo istud est in corde prophetarum vaticinantium mendacium, et prophetantium seductiones cordis sui?
27 Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali.
Qui volunt facere ut obliviscatur populus meus nominis mei propter somnia eorum, quæ narrat unusquisque ad proximum suum: sicut obliti sunt patres eorum nominis mei propter Baal.
28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama.
Propheta, qui habet somnium, narret somnium: et qui habet sermonem meum, loquatur sermonem meum vere: quid paleis ad triticum, dicit Dominus?
29 “Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.
Numquid non verba mea sunt quasi ignis, dicit Dominus: et quasi malleus conterens petram?
30 “Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Propterea ecce ego ad prophetas, ait Dominus: qui furantur verba mea unusquisque a proximo suo.
31 “Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’
Ecce ego ad prophetas, ait Dominus: qui assumunt linguas suas, et aiunt: Dicit Dominus.
32 Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.
Ecce ego ad prophetas somniantes mendacium, ait Dominus: qui narraverunt ea, et seduxerunt populum meum in mendacio suo, et in miraculis suis: cum ego non misissem eos, nec mandassem eis, qui nihil profuerunt populo huic, dicit Dominus.
33 “Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’
Si igitur interrogaverit te populus iste, vel propheta, aut sacerdos, dicens: Quod est onus Domini? dices ad eos: Vos estis onus. proiiciam quippe vos, dicit Dominus.
34 Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge.
Et propheta, et sacerdos, et populus qui dicit: Onus Domini: visitabo super virum illum, et super domum eius.
35 Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’
Hæc dicetis unusquisque ad proximum, et ad fratrem suum: Quid respondit Dominus? et quid locutus est Dominus?
36 Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe.
Et onus Domini ultra non memorabitur: quia onus erit unicuique sermo suus: et pervertistis verba Dei viventis, Domini exercituum Dei nostri.
37 Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’
Hæc dices ad prophetam: Quid respondit tibi Dominus? et quid locutus est Dominus?
38 Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’
Si autem onus Domini dixeritis: propter hoc hæc dicit Dominus: Quia dixistis sermonem istum: Onus Domini: et misi ad vos, dicens: Nolite dicere: Onus Domini:
39 kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe.
Propterea ecce ego tollam vos portans, et derelinquam vos, et civitatem, quam dedi vobis, et patribus vestris a facie mea.
40 Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”
Et dabo vos in opprobrium sempiternum, et in ignominiam æternam, quæ numquam oblivione delebitur.

< Yeremiya 23 >