< Yeremiya 22 >

1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda
Así dijo el SEÑOR: Desciende a la casa del rey de Judá, y habla allí esta palabra,
2 olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino.
Y di: Oye palabra del SEÑOR, oh rey de Judá que estás sentado sobre el trono de David, tú, y tus criados, y tu pueblo que entran por estas puertas.
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
Así dijo el SEÑOR: Haced juicio y justicia, y librad al oprimido de mano del opresor, y no engañéis, ni robéis al extranjero, ni al huérfano, ni a la viuda, ni derraméis sangre inocente en este lugar.
4 Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe.
Porque si efectivamente obedeciereis esta palabra, entrarán por las puertas de esta Casa los reyes sentados por David sobre su trono, montados en carros y en caballos, él, y sus criados, y su pueblo.
5 ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
Mas si no oyereis estas palabras, por mí juré, dijo el SEÑOR, que esta Casa será desierta.
6 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti, “Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi, ng’entikko y’olusozi Lebanooni, ddala ddala nzija kukufuula ddungu, ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
Porque así dijo el SEÑOR sobre la casa del rey de Judá: Galaad tú a mí, oh cabeza del Líbano; si yo no te pusiere en soledad, y ciudades inhabitables.
7 Ndikusindikira abakuzikiriza, buli musajja n’ebyokulwanyisa bye, era balitema emivule gyo egisinga obulungi ne bagisuula mu muliro.
Y señalaré contra ti disipadores, cada uno con sus armas; y cortarán tus cedros escogidos, y los echarán en el fuego.
8 “Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’
Y muchos gentiles pasarán junto a esta ciudad, y dirán cada uno a su compañero: ¿Por qué lo hizo así el SEÑOR con esta gran ciudad?
9 Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’”
Y dirán: Porque dejaron el Pacto del SEÑOR su Dios, y adoraron dioses ajenos, y les sirvieron.
10 Temukaabira kabaka afudde oba okumukungubagira, wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse, kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
No lloréis al muerto, ni tengáis compasión de él; llorad amargamente por el que se va; porque no volverá jamás, ni verá la tierra donde nació.
11 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda.
Porque así dijo el SEÑOR, de Salum hijo de Josías, rey de Judá, que reina por Josías su padre: El que saliere de este lugar, no volverá acá más;
12 Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
Antes morirá en el lugar adonde lo transportaren, y no verá más esta tierra.
13 “Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu, ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere n’atabasasula mpeera yaabwe.
¡Ay del que edifica su casa y no en justicia, y sus salas y no en juicio, sirviéndose de su prójimo de balde, y no dándole el salario de su trabajo!
14 Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’ Kale nnaakola amadirisa amanene nnaateekamu emivule era nnaasiigako langi emyufu.
Que dice: Edificaré para mí casa espaciosa, y airosas salas; y le abre ventanas, y la cubre de cedro, y la pinta de bermellón.
15 “Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka? Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa? Yakola ebituufu eby’obwenkanya. Noolwekyo byonna byamugendera bulungi.
¿Por ventura reinarás porque te cercas de cedro? ¿Por ventura no comió y bebió tu padre, e hizo juicio y justicia, y entonces le fue bien?
16 Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu kale byonna ne bimugendera bulungi. Ekyo si kye kitegeeza okummanya?” bw’ayogera Mukama.
El juzgó la causa del pobre y del menesteroso, y entonces estuvo bien. ¿No es esto conocerme a mí? Dijo el SEÑOR.
17 “Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe biri ku magoba ag’obukuusa, ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
Mas tus ojos y tu corazón no son sino a tu avaricia, y a derramar la sangre inocente, y a opresión, y a hacer agravio.
18 Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira; ‘Kikafuuwe, mukama wange!’ Kikafuuwe, obugagga bwe!
Por tanto, así dijo el SEÑOR, de Joacim hijo de Josías, rey de Judá: No lo llorarán, diciendo: ¡Ay, hermano mío! Y ¡ay, hermana! Ni lo lamentarán, diciendo: ¡Ay, señor! ¡Ay, su grandeza!
19 Aliziikibwa nga bwe baziika endogoyi, akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”
En sepultura de asno será enterrado, arrastrándole y echándole fuera de las puertas de Jerusalén.
20 “Genda mu Lebanooni okaabe, leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani. Kaabira ku Abalimu, kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
Sube al Líbano, y clama, y en Basán da tu voz, y grita hacia todas partes; porque todos tus enamorados son quebrantados.
21 Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’ Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo, togonderanga ku ddoboozi lyange.
Hablé a ti en tus prosperidades; mas dijiste: No oiré. Este fue tu camino desde tu juventud, que nunca oíste mi voz.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna, n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse. Olwo okwatibwe ensonyi oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
A todos tus pastores pacerá el viento, y tus enamorados irán en cautiverio; entonces te avergonzarás y te confundirás a causa de toda tu malicia.
23 Mmwe abali mu Lebanooni, abesulira mu bizimbe eby’emivule, nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde! Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
Habitaste en el Líbano, hiciste tu nido en los cedros, ¡cómo gemirás cuando te vinieren dolores, dolor como de mujer que está de parto!
24 “Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama.
Vivo yo, dice el SEÑOR, que si Conías hijo de Joacim rey de Judá fuera anillo en mi mano diestra, aun de allí te arrancaré;
25 “Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya.
y te entregaré en mano de los que buscan tu alma, y en mano de aquellos cuya vista temes; sí, en mano de Nabucodonosor rey de Babilonia, y en mano de los caldeos.
26 Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira.
Y te haré transportar, a ti, y a tu madre que te engendró, a tierra ajena en que no nacisteis; y allá moriréis.
27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”
Y a la tierra a la cual levantan ellos su alma para tornar, allá no volverán.
28 Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa, ekimenyese, ekitaliiko ayagala? Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru, basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
¿Por ventura es este hombre Conías un ídolo vil, quebrado? ¿ Es vaso con quien nadie se deleita? ¿Por qué fueron arrojados, él y su generación; fueron echados a tierra que no conocieron?
29 Ayi ggwe ensi, ensi, wulira ekigambo kya Katonda!
¡Oh tierra, tierra, tierra! Oye palabra del SEÑOR.
30 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako kubanga tewali ku baana be alikulaakulana, alituula ku ntebe ya Dawudi oba aliddayo okufuga mu Yuda.”
Así dijo el SEÑOR: Escribid que será este varón privado de generación, hombre a quien nada sucederá prósperamente en todos los días de su vida; porque ningún hombre de su simiente que se sentare sobre el trono de David, y que se enseñoreare sobre Judá, será jamás dichoso.

< Yeremiya 22 >