< Yeremiya 21 >

1 Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti,
上主傳給耶肋米亞的話:那時,漆德克雅王正派瑪耳基雅的兒子帕市胡爾,和司祭瑪阿色雅的兒子責法尼雅來見他說:
2 “Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”
請你替我們詢問上主:「巴比倫王拿步高既來與我們作戰,上主是否依照他所行的奇事來協助我們,叫他離我們遠去﹖」
3 Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti,
耶肋米亞便回答他們說:「你們應這樣對漆德克雅說:
4 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino.
上主,以色列的天主這樣說:看,我必使你們手中所持,用以攻擊在城外圍攻你們的巴比倫王和加色丁人的武器,反回集中在這城的中心。
5 Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi.
然後我要伸出手來,以強力的手臂、震怒、狂暴和憤恨痛擊你們,
6 Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino.
痛擊住在這裏的人和獸;他們必死於盛行的瘟疫。
7 Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
此後──上主的斷語──我必將猶大王漆德克雅和他的臣僕,並這城中幸免於瘟疫、刀劍和饑饉的人民,交在巴比倫王拿步高和他們的仇敵,以及謀圖他們性命者的手中,叫敵人用利刃擊殺他們,毫不饒恕,毫不憐憫,毫不表同情。
8 “Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa.
此外,你應對這人民說:看,我將生命的路和死亡的路,擺在你們面前:
9 Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe.
凡留在這城中的,必死於刀劍、饑饉和瘟疫;凡出來向圍攻你們的加色丁人投降的,必保全性命,必有生命當作自己的勝利品。
10 Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’
我所以轉面向著這城,是為降災,並不是為賜福──上主的斷語──這城必被交在巴比倫王手中,他要火燒這城。」
11 “N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama;
對於猶大的王室,你應該這樣說:你們該聆聽上主的話,
12 ggwe ennyumba ya Dawudi, “‘kino Mukama ky’agamba: Musale emisango mu bwenkanya, mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza, obusungu bwange buleme kuvaayo bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze, nga tewakyali n’omu abuziyiza.
達味家族! 上主這樣說:「你們應及早執行正義,從壓迫者手中解救被剝奪的人,免得我的忿怒,因你們行事邪惡,像火一般燒起,而沒有人能夠熄滅。」
13 Laba nkugguddeko olutalo, ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu, ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama, mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba? Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
至於你這居住在谷中和平原巖石上的人,看,我來對付你──上主的斷語──你們誇說:「誰能下來攻擊我們﹖誰能進入我們的巢穴﹖」
14 Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri, era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe, gwokye byonna ebikyetoolodde,’” bw’ayogera Mukama.
我必按照你們行為應得的,來懲罰你們──上主的斷語──我要在她的樹林裏放火,吞滅她四周的一切。

< Yeremiya 21 >